Gavumenti eri mu kunoonya abantu bonna abali mu kutambuza amawulire ag’obulimba nti sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah yafudde.
Nga 5, Febwali, 2022, Oulanyah yatwalibwa mu ddwaaliro e Seattle mu ggwanga erya America oluvanyuma lwe bbanga ng’ali ku bujanjabi mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.
Gavumenti ekyagaanye okuvaayo wadde famire okutegeeza eggwanga ku bulamu bwa Sipiika Oulanyah.
Ku lunnaku Olwokusatu, amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among yasitudde okugenda mu ggwanga erya America, okulambula ku mukama we Oulanyah.
Amyuka sipiika okugenda mu America yegatiddwako Minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng, Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo, Pulezidenti wa Democratic Party (DP) Nobert Mao, muganda wa sipiika Oulanyah n’abalala.
Wabula amyuka sipiika Among yavuddeyo okutegeeza eggwanga ku bulamu bwa Oulanyah.
Among yagambye nti kituufu Oulanyah tali mu mbeera nuungi, kwe kusaba abantu okweyongera okumusabira n’okusaba abantu okuwa famire Oulanyah ekitiibwa, “Let us keep him in prayers for a speedy and complete recovery. I urge the public to respect his privacy and that of the family“.
Mungeri y’emu ne Pulezidenti wa DP Mao yagambye nti sipiika Oulanyah ali mu mbeera mbi nnyo mu kiseera kino yetaaga essaala ya buli muntu, “I’m with the CJ, the D/Speaker, the Health Minister & the Speaker’s brother in Seattle where the Speaker is hospitalized. A man who is very ill deserves our prayers. Above all let’s respect his privacy and that of his family. The D/Speaker will soon issue a statement. It is well“.
Wabula ne Gavumenti evuddeyo okulwanirira eddembe lya sipiika Oulanyah.
Okusinzira ku Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi, Gavumenti etandiise okunoonya abantu bonna abali mu kutambuza amawulire ag’obulimba nti Sipiika Oulanyah yafudde.
Dr. Baryomunsi agamba nti Gavumenti egenda kweyambisa ekitongole ekirung’amya ebyempuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission ( UCC) okunoonya abantu bonna abali mu kweyambisa emikutu migatta, okutambuza amawulire ag’obulimba ku sipiika.
Abantu bali mu kweyambisa Face Book ne Twitter, okutambuza amawulire nti sipiika Oulanyah yafudde era y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti evuddeyo okubanoonya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RusbtHcCWcY