Bannansi bakyakungubaga olw’okufa kwa sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah eyafudde olunnaku olw’eggulo ku Ssande.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza eggwanga mu butongole okufa okwa Oulanyah.
Oulanyah yafiiridde mu ddwaaliro e Seattle mu ggwanga erya America era amawulire agaliwo galaga nti yafudde kkansa w’omu lubuto.

Olunnaku olwaleero, olukiiko lwa Baminisita lugenda kutuula mu State House Entebbe okusalawo ku ntekateeka z’okuziika Oulanyah mu bitiibwa.
Mu kiro ekikeeseza olwaleero, olumbe lukumiddwa mu maka ge e Muyenga nga lwetabiddwako abakungu abenjawulo omuli Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among, Nnampala wa gavumenti Thomas Tayebwa, Minisita w’amawulire Dr. Chris Baryomunsi, Minisita w’ebyobulamu Dr Ruth Jane Aceng, ababaka ba Palamenti ssaako n’abakulembeze abalala.

Ekiro kyonna, Oulanyah ayogeddwako ng’omusajja abadde ayagala eggwanga lye, omusajja omukozi, abadde musajja mukugu mu nsonga z’amateeka, omusajja omugenzi era eggwanga lifiiriddwa nnyo.
Oulanyah abadde mubaka wa Palamenti akiikirira abantu mu Konsituwense y’e Omoro mu disitulikiti y’e Omoro mu bitundu bya Acholi, mambuka ga Uganda.

Mu makaage e Muyenga mu kiro, omukisa gwawereddwa abantu ab’enjawulo okwogera ku bulamu bw’omugenzi.
Omubaka we Gulu West Martin Ojara Mapenduzi, y’omu ku bafunye omukisa kuba Oulanyah abadde mukwano gwe nnyo ate abadde mukwano gwa Famire.
Mapenduzi agamba nti Oulanya abadde alina abaana bana (4) bokka mu bulamu.

Agamba nti abaana babiri (2) bali mu Uganda ate abaana abalala bali mu nsi z’ebweru okuli Scotland ne America.
Abamu ku baana kuliko Daina, Akim, Didi.
Oulanyah afudde talina mukyala amanyikiddwa mu butongole oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya ne mukyala we Amoo Okot amanyikiddwa nga Lady Winnie.

Oulanyah yayawukana ne mukyala we Amoo Okot mu 2016 oluvanyuma lw’okusaba kkooti okubawula mu mateeka.
Nga 24, May, 2021, Jacob Oulanyah yalondebwa ku bwa sipiika bwa Palamenti y’e 11. Mu kulonda okwali mu kisaawe e Kololo, yafuna obululu 310, Rebecca Kadaga yafuna obululu 197 ate omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda owa Forum for Democratic Change (FDC) yafuna 15.
Oulanyah yalondebwa okudda mu bigere bya Kadaga.
Mu byafaayo bya Uganda, Oulanyah ye sipiika wa Palamenti asoose okufiira mu ntebe era ye sipiika asoose okuwereza Palamenti akaseera akatono.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RThA8pVvwEk