Akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM), kasunsudde abantu 13, abavuddeyo nga begwanyiza okuvuganya ku bwa sipiika bwa Palamenti okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah, eyafiiridde mu ggwanga erya America ku lunnaku lwa Ssande.
Ku basunsuddwa, kuliko amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among, Minisita w’ebyobulamu Dr. Ruth Jane Aceng, Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Hamson Obua, amyuka ssaabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi, Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth, Atima Jackson okuva mu Arua, Sarah Achieng Opendi okuva e Tororo, Felix Okot Ogong okuva mu Dokolo.
Abalala kuliko Ssekikubo Theodore okuva e Ssembabule, Oboth Markson Jacob okuva mu Tororo, Kintu Alex Brandon okuva e Jinja, Asiimwe Florence Akiiki okuva e Masindi, Okot John Amos okuva e Agago ne Wakabi Pius okuva mu bitundu bye Hoima.
Ku bonna 13, 9 basajja, abakyala kuliko 4, nga bonna basindikiddwa mu kakiiko ka NRM ak’oku ntikko aka Central Executive Committee (CEC), okwongera okubekeneenya.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NRM, Dr. Tanga Odio, asiimye bannankibiina ki NRM okwolesa empisa n’okuvaayo mu bungi okulaga nti begwanyiza ekya sipiika wa Palamenti.
Olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu, akakiiko ka CEC, kagenda kutuula okusalawo ku begwanyiza entebe ya sipiika ate ku Lwokuna nga 24, omwezi guno Ogwokusatu, 2022 aba kabondo ka NRM bonna bayitiddwa mu kisaawe e Kololo, okusalawo ku muntu agenda okulemberamu ekibiina kyabwe ku bwa sipiika.
Ku Lwokutaano nga 25, omwezi guno Ogwokusatu, Palamenti lw’egenda okulonda sipiika omuggya okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah, oluvanyuma entekateeka z’okuziika Oulanyah, zitandiike okutambula obulungi.
Singa CEC eronda Anita ku bwa sipiika bwa Palamenti ne ku Lwokutaano mu kisaawe e Kololo, mu kulonda okugenda okubirizibwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, Anita alondebwa ku bwa sipiika, ekifo ky’amyuka sipiika kiba kisigadde nga kikalu.
Kitegeeza Palamenti erina okulonda agenda okumyuka sipiika wa Palamenti.
Mu byafaayo bya Uganda, Oulanyah ye sipiika wa Palamenti asoose okufiira mu ntebe era ye sipiika asoose okuwereza Palamenti akaseera akatono.
Nga 24, May, 2021, Jacob Oulanyah yalondebwa ku bwa sipiika bwa Palamenti y’e 11. Mu kulonda okwali mu kisaawe e Kololo, yafuna obululu 310, Rebecca Kadaga yafuna obululu 197 ate omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda owa Forum for Democratic Change (FDC) yafuna 15.
Oulanyah yalondebwa okudda mu bigere bya Kadaga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=_BcAA06rQHY