Poliisi y’e Kabalagala eriko by’ezudde ku mwana myaka 2 eyagudde mu kidiba ky’ebyennyanja ku Speke resort Munyonyo.

Omwana nga muwala, yagudde mu kidiba akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 27, March, 2022 era yafiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Speke resort Munyonyo

Okunoonyereza kulaga nti omwana yabadde ne bazadde be nnyina Nabawesi Florence ne kitaawe nga munnansi we Nigeria ategerekeseeko erya Micheal nga bagenze ku Speke resort.

Omwana yatambudde okuva ku bazadde okutuusa lwe yagudde mu kidiba.

Ebyana nga birya bulamu ku Swimming Pool

ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti mu kwekebejja kkamera z’ekifo, omu ku bakozi yasobodde okulaba omwana ng’ali ku kidiba era okumugyayo okumutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okufuna obujanjabi, yafudde bakamutuusa.

ASP Luke Owoyesigyire

Owoyesigyire agamba nti omwana okufa mulimu ekikolwa ky’obulagajjavu bwa bazadde ssaako n’abakozi ku Speke resort era okunoonyereza kugenda mu maaso.

Ate Poliisi y’e Buyende ekutte omusajja ku misango gy’okutta mukyala we nga yamutemyetemye okutuusa lwe yafudde.

Charles Tenywa nga mutuuze ku kyalo Bulangira mu ggoombolola y’e Gumbi yakwattiddwa ku by’okutta Christine Namusobya myaka 30 abadde mukyala we okumala emyaka egiwerako.

Tenywa yakutte embazzi natematema mukyala we, omulambo naguziinga mu kiveera, oluvanyuma naguteeka wansi w’ekitanda.

Amangu ddala ng’amaze okutta mukyala we, yetutte ku kitebe kya Poliisi e Buyende.

Okusinzira ku batuuze, Tenywa ne mukyala we, baludde nga balina obutakaanya ng’omusajja alumiriza mukyala we bwenzi n’okumulemesa, okusinda omukwano okumala ennaku eziwera.

Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, agamba nti embazzi ezuuliddwa, engoye nga zonna zijjudde omusaayi nga n’omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kamuli okwekebejjebwa.

Kasadha agamba nti wadde omusajja yetutte ku Poliisi, okunoonyereza kutandikiddewo.

Mungeri y’emu Kasadha awanjagidde abatuuze abalina okwemulugunya ku nsonga yonna, okukomya okutwalira amateeka mu ngalo wabula okweyambisa abakulembeze mu bitundu byabwe ssaako ne Poliisi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dFmpcRZ9gu8&t=65s