Ddereeva wa takisi awonye emiggo gy’abatuuze ku luguudo lwe Busabala bw’akwattiddwa ng’ali ne muk’omusajja mu loogi basinda mukwano.

Ddereeva ategerekeseeko erya Ssemambo ng’avugira takisi ku luguudo lwe Kampala – Bbunga – Munyonyo – Salaama road Makindye, yakwattiddwa.

Ssemambo yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri ku ssaawa nga 2 ez’ekiro.

Omusajja ayogedde!

Omusajja ategerekeseeko erya Katende agamba nti abadde afuna amawulire nti mukyala we maama Stella alina omusajja omulala ng’avuga bodaboda.

Katende agamba nti okuva wiiki ewedde abadde alinnya mukyala we akagere okutuusa lwe yafunye omusajja wa bodaboda okumulondoola buli kawungeezi ku ssente 100,000 buli wiiki.

Agamba nti mukyala we atunda byakunywa mu ppaaka empya era abadde asukkiridde okudda awaka kikeerezi nga zigenda mu ssaawa 3 ez’ekiro.

Katende wadde musajja wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti ye mukyala we balina abaana basatu (3) era abadde takisuubira nti mukyala we ayinza okudda mu bwenzi.

Oluvanyuma lw’okukwata mukyala we ng’ali mu kaboozi ne ddereeva wa takisi, yasabye abantu obutakola lutalo wabula yalagidde mukyala we okugenda n’omusiguze.

Wadde omukyala yasabye bba okumusonyiwa, Katende yamugobye mu makaage kuba ayinza okuleeta ebirwadde.

Omukyala awadde ensonga ze!

Omukyala agamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’omusajja talina wadde 100 ate nga balina okunoonya eky’okulya mu kiseera ky’omuggalo, Ssemambo yali mukwano gwe era yali amuwa obuyambi bwa ssente nga mukwano gwe kyokka oluvanyuma, yamusaba omukwano.

Omukyala ono maama Stella agamba nti abadde mu laavu ne Ssemambo okuva omwaka oguwedde ogwa 2021 era omukwano gubadde gwa kyama kuba naye musajja mufumbo.

Agamba olwa bba okumugoba, agenda kupangisa ennyumba, okutambuza obulamu kuba ye mukyala mukozi.

Omusiguze Ssemambo agaanye okuvaamu ekigambo kyonna wabula yabadde mu birowoozo bingi nnyo.

Abatuuze bawadde ensonga zaabwe!

Abamu ku batuuze n’okusingira ddala abakyala bagamba nti abasajja basukkiridde okusulirira obuvunanyizibwa bwabwe ekivirideko abakyala okwenyigira mu bwenzi, okunoonya ssente z’okulabirira abaana.

Ate abasajja bagamba nti omukyala nga bwenzi, aba mwenzi wadde omuwadde buli kimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dFmpcRZ9gu8