Kyaddaki Poliisi ekutte taata ku misango gy’okusobya ku baana be basatu (3), ekirese abatuuze nga bawuninkiridde.
Kigongo Mugisha myaka 34 omutuuze ku kyalo Kiyuuya mu Tawuni Kanso y’e Kyenda mu disitulikiti y’e Mubende yakwattiddwa.
Okusinzira ku batuuze, Kigongo abadde asobya ku baana be okuli myaka 7, 11 ne 14 mu kiseera nga nnyabwe taliiwo.
Toespista Nagujja, Nnabakyala w’oku kyalo, agamba nti omu ku baana yamutegeeza nga kitaawe, bw’aludde ng’amukozesa nga n’oluusi, amulemesa okugenda ku ssomero, asobole okumusobyako emisana.
Nagujja agamba nti yasobodde okusuula enkessi, okutuusa okutegeera nti Kigongo awaka gyali, okutegeeza abakulembeze omuli ne ssentebe w’ekyalo Deogratius Ninsiima, omusajja okukwattibwa.
Ate Jane Nakasanke, omu ku batuuze, agamba nti omu ku baana yamutegeeza nga bw’agenda okwetta, olwa kitaawe okumusobyako.
Nakasanke, agamba nti kyewunyisa, taata okudda ku baana be, okubakozesa.
Ku nsonga ezo, 100.2 Galaxy FM, bw’ebadde ewayamu ne ssentebe w’ekyalo Deogratius Ninsiima ate nga mukulu wa Kigongo kati omukwate, agamba nti omuto we okusigala mu kkomera, kye kigenda okuyamba okutaasa embeera n’okutangira abaana b’oku kyalo okusobezebwako.
Ninsiima agamba nti Kigongo okwenyigira mu kikolwa ekyo, kabonero akalaga nti asobola okusobya ne ku baana abalala.
Ate Rachael Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, Mubende mweri, agambye nti Kigongo asindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Mubende.
Mungeri y’emu agambye nti wakati mu kunoonyereza kwabwe, n’abaana basindikiddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=NpiKStFRxIc