Omumyuka wa ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi naye avuddeyo ku nsonga z’okuwa Jacob Oulanyah obutwa.

Oulanyah abadde sipiika wa Palamenti y’e 11 yafa nga 20, March, 2022 mu ggwanga erya America era yaziikiddwa ku Lwokutaano nga 8, April, 2022, mu disitulikiti y’e Omoro.

Alipoota y’abasawo eyasomeddwa Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng, yagambye nti Oulanyah abadde alina Kansa kyokka okufa amangu, kyavudde ku bitundu by’omubiri omuli omutima, ekibumba, amawungwe ssaako n’ensigo, okufa nga tebikyakola.

Wabula ku Lwokutaano, taata w’omugenzi Nathan Okori bwe yali ayogerako eri abakungubazi ku Ajuri Primary School, yategeeza nti mutabani we Jacob Oulanyah yaweebwa obutwa.

Okori agamba nti yafuna essimu okuva eri mutabani we Oulanyah nti yali aweereddwa obutwa nga n’okumutwala mu ggwanga erya America, baali bagezaako okumutaasa okufa obutwa.

Amangu ddala, Minisita w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi yagambye nti Jacob Oulanyah yafiiridde mu ddwaaliro, mu maaso g’abasawo, ate aludde nga mulwadde, taata Okori si musawo era kikyamu okugamba nti mutabani we yafudde butwa ate nga waliwo alipoota y’abasawo.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, ne Kiwanda Ssuubi, eyaliko minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi yagambye nti balina okuddamu okwekeneenya ebigambo bya taata Okori.

Kiwanda agamba nti abadde mukwano gw’omugenzi era Jacob Oulanyah yali yamutegezaako nti aweereddwa obutwa mu 2021.

Agamba nti abantu okuddamu okwesiga obulungi ebigambo bya Gavumenti, balina okuddamu okwekeneenya ebigambo bya taata Okori nti mutabani we yafudde butwa.

Minisira Dr. Baryomunsi era avuddeyo ku bigambo bya Kiwanda.

Agamba nti bw’aba Kiwanda yali akimanyi nti Jacob Oulanyah yaweebwa obutwa, lwaki alinze Oulanyah okufa n’okuziikibwa, okuvaayo okutambuza ebigambo.

Dr. Baryomunsi agamba nti Kiwanda bw’aba alina obukakafu ku nsonga eyo, alina okuvaayo okuyambako Gavumenti mu kunoonyereza.

Ate omwogezi wekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) era omubaka we Kira Ibrahim Ssemujju Nganda agamba nti ye abadde akimanyi nti Jacob Oulanyah abadde mulwadde okumala ebbanga.

Ssemujju agamba nti Kiwanda ne taata w’omugenzi Jacob Oulanyah, Okori, balina okukwatibwa olw’okusirikira ebyama ku by’okuwa Oulanyah obutwa.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga yasuubiza nti Poliisi yakunoonyereza ku bigambibwa nti Jacob Oulanyah yaweebwa obutwa.

Poliisi yafuna ekiragiro okuva eri Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yali ayogerako eri ababaka ba Palamenti oluvanyuma lw’okulonda Anita Among ne Thomas Tayebwa ku bwa sipiika bwa Palamenti n’omumyuka mu kisaawe e Kololo.

Enanga agamba nti abantu bonna abagamba nti Jacob Oulanyah yaweebwa obutwa, balina okubanoonya, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Wadde bangi abavuddeyo ku nsonga y’obutwa, Kiwanda naye kati avuddeyo ku nsonga y’emu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Hd0FMtaxh90