Poliisi mu bitundu bya Aswa etandiise okunoonyereza ku muyimbi Bosmic Otim, okuva mu mambuka ga Uganda olw’okufulumya ebigambo ebikuma mu bantu omuliro bwe yabadde akutte emmundu ez’ebika ebyenjawulo.

Vidiyo nga Otim akutte emmundu zibadde zitambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp ebbanga erigenda mu wiiki 2.

Mu vidiyo esooka, Otim bwe yabadde akutte emmundu ekika kya AK47, yasuubiza okukola obulumbaganyi ku bantu abazze nga benyigira mu kutta Abacholi. Agamba nti kati ye ssaawa bonna okubanoonya battibwe.

Omuyimbi Otim

Mu Lungereza, Otim yagambye nti, “I’m bitter at the way some people think they can make fools of the Acholi people. It’s time, anyone who thinks he is used to killing the Acholi, we shall kill you, we shall not leave you. If you have no problem with us, we shall spare your life, but if you had trouble with us and hated us and wanted Acholi to be killed, we shall kill you, it’s the only solution“.

Amangu ddala, Otim yavaayo nagamba nti vidiyo yabadde njigirire okuva mu bantu abali mu kwenoonyeza byaabwe.

Mu vidiyo endala, Otim yabadde akutte emmundu ne magazini ez’enjawulo.

Mu vidiyo, Otim yalabudde omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Kitgum n’omu ku bannamawulire ku laadiyo mu kitundu ekyo, okukomya okutambuza amawulire nti Poliisi emwetaaga n’okukomya okumwogerako ku laadiyo.

Otim aliira ku nsiko

Mu ngeri y’emu, mu vidiyo yalabudde nti balina okutambula nga balina obukuumi kuba akooye ejjoogo lyabwe.

Okuva sabiiti ewedde, vidiyo za Otim zivuddeko abantu okutambuza ebigambo ebyenjawulo ssaako n’abamu okulaga nti batambulira mu kutya.

David Ongom Mudong, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa, agamba nti Poliisi efunye vidiyo zonna era bali mu zekeneenya n’okunoonyereza ekigendererwa kya Otim.

Mudong mu ngeri y’emu agambye nti Otim muntu wa buligyo nga balina okunoonyereza lwaki yafulumiza vidiyo ng’ali n’emmundu, kuba kimenya amateeka okuba n’emmundu mu ngeri emenya amateeka.

Otim era abadde anoonyezebwa okugibwako sitetimenti olw’okuvaayo nga yebuuza ku nfa ya Jacob Oulanyah abadde sipiika wa Palamenti.

Kigambibwa Otim yafulumiza oluyimba ng’asaba okudibwaamu ekivaako abakulembeze mu bitundu bya Acholi okufa ku myaka emito.