Minisita w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi alabudde amyuka ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi ssaako n’omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okukomya okutambuza ebigambo ebigendereddwamu okusiiga erinnya lye enziro.

Dr. Baryomunsi abadde omukambwe ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, akangudde ku ddoboozi olwa Poliisi okumuyita ku bigambibwa nti y’omu ku baludde nga batambuza ebigambo nti Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa Palamenti y’e 11 yafudde butwa.

Alabudde Poliisi nti wakati mu kunoonyereza balina okulaga obukugu, kwe kulabula Kiwanda Ssuubi okwesonyiwa erinnya lye, okusinga okutambuza ebigambo, ebiyinza okusiiga obukyayi.

Minisita Baryomunsi

Baryomunsi ng’omusawo omutendeke, azzeemu okutegeeza eggwanga nti Jacob Oulanyah okufa, yali mulwadde wa Kansa wabula eky’obutwa, takimanyiko.

 

Mungeri y’emu agamba nti Fred Enanga, engeri gy’akuttemu ensonga za Jacob Oulanyah okunoonyereza omuli n’okuyita taata w’omugenzi Nathan Okori, kabonero akalaga nti essaawa yonna ayinza okuyita omugenzi Jacob Oulanyah okumugyako sitetimenti ku bigambo bye, eby’okuweebwa obutwa.

Dr. Baryomunsi agamba nti mu kiseera kino taata w’omugenzi Okori ali mu maziga nga yetaaga bigambo okumuzaamu amaanyi wabula si Poliisi kumuyita abitebye ku by’okufa kwa mutabani we.

Enanga, mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru olunnaku olw’eggulo ku Mmande, 11, April, 2022, yagambye nti abantu bonna abali mu kutambuza amawulire ag’obulimba nti Jacob Oulanyah yafa butwa, balina okuyambako Poliisi mu kunoonyereza nga ne Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) y’omu kw’abo abeetaagibwa.

Abalala abali ku ‘List’ ya Poliisi kuliko Kiwanda Ssuubi, omubaka we Kilak South, Gilbert Olanya n’abalala.

Ku nsonga y’emu aba Democratic Party (DP) bawagidde ekya Minisita Dr. Baryomunsi, Poliisi okukyusa mu ntambuza y’emirimu nga betaaga obukugu mu kunoonyereza.

Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina ki DP Okoler Opio, Poliisi yakoze nsobi okulaga nti betaaga Okori mu mawulire.

Okoler agamba nti taata Okori balina okumuwa ekitiibwa kye ng’omusajja omukulu, okusobola okubawa amawulire amatuufu ku nfa y’omutabani.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uOGfC1GAyQY