Kkooti enkulu mu Kampala egaanye okuyimbula omusuubuzi Herbert Arinaitwe ali ku misango gy’okufulumya n’okutambuza ebifaananyi bya munnakatemba Martha Kagimba amanyikiddwa nga Martha Kay ng’ali bukunya.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 11, Ogwokuna, 2019 Arinaitwe yabba Martha Kay amassimu 2 okuli Samsung Galaxy ne iPhone nga zonna zibalibwamu ssente obukadde 6.

Mungeri y’emu yatwala akasawo omwali ATM, ‘driving permit’ ssaako ne ssente enkalu 400,000.

Oluvanyuma lw’okubba amassimu, Arinaitwe yatambuza ebifaananyi bya Martha Kay ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp, Twitter ng’ali bukunya, mu sitayiro ez’enjawulo ne ppoozi nga bangi ku bannayuganda basigala bakyebuuza ekyana ekiri mu kwetiriboosa.

Arinaitwe mu kkooti

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Arinaitwe yagulira Marth Kay eby’okunywa wakati nga bali mu kunyumya ssaako n’okumulaga ebifaananyi by’obuseegu ku ssimu ye, era kigambibwa alina ebintu bye yateeka mu by’okunywa bya Marth Kay, olwanafuwa, kwe kutwala amassimu gonna n’akasawo ke.

Marth Kay mbu yagenda okudda engulu ng’ali bukunya mu Hotero emu ku luguudo lwe Ntebbe nga n’ebintu bye bitwaliddwa.

Nga wayise ennaku, Arinaitwe yakwatibwa nga 11, Ogwomusanvu, 2019, amaggye g’ekitongole kya CMI naggulwako emisango, era okuva olwo, abadde ku limanda mu kkomera e Luzira.

Marth Kay

Wabula mu kkooti, yasaba omulamuzi okuyimbulwa asobole okwewozaako ng’ava bweru kuba emisango egyamugulwako, teginamusinga nga n’okugimanya tagimanyi.

Mu kkooti, yaleeta Kitaawe David Mugume ne nnyina Ruth Kushaba Mugume okweyimirirwa wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Timothy Amerit, bagamba nti singa Arinaitwe ayimbulwa, ayinza okudduka mu ggwanga kuba ali ku misango gya naggomola.

Mu kkooti, omulamuzi Isaac Muwata agaanye okuyimbula Arinaitwe nga singa ayimbulwa ayinza okudduka ng’emisango gy’aliko omuli okubbisa eryanyi n’okutambusa ebifaananyi by’obuseegu ku mikutu migatta bantu, singa gimukka mu vvi, ayinza n’okuwanikibwa kalaba.

Omulamuzi era agambye nti Arinaitwe alemeddwa okuwa ensonga yonna lwaki yetaaga okuyimbulwa. Wabula asuubiza okwekeneenya eky’okulwawo, okuteekawo ennaku, okuwuliriza emisango gye mu kkooti enkulu, ekintu ekityoboola eddembe lye.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=27yHgx1J7tc