Mu Uganda, abawala abali b’obulamu n’okusingira ddala mu Kampala, begumbulidde okutambula nga tebayambadde kawale ka munda.

Buli kiro, mu kiraabu ez’enjawulo, ku bawala 10, 7 bagenda okulya obulamu nga tebali mu kawale ka munda.

Ennaku zino, bangi ku bawala begumbulidde okwambala empale ezibakwata mu ngeri y’okulaga omubiri n’enkula era kiba kizibu nnyo okusanga omuwala ali mu sikaati mu bbaala oba kiraabu.

Wabula Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, alambuludde lwaki abaana abawala bakoowa okwambala akawale k’omunda.

Bakoowa!

Ssenga Kawomera agamba nti abawala bangi bakoowa okwambala akawale k’omunda mbu bakoowa era mbu zibamalako emirembe.

Kawomera agamba nti akawale k’omunda abawala abamu bagamba nti singa akambala, ng’ali mu kiraabu oba ebbaala, teyetaaya bulungi.

Okusikiriza!

Ssenga Kawomera era agamba nti abawala bangi bagenda mu bifo ebisanyukirwamu kunoonya basajja abayinza okubawa ku ssente.

Agamba nti okwambala olugoye nga temuli kawale, kisika mangu abasajja era bangi ku bawala bafunye abasajja okuva mu bifo ebisanyukirwamu lwa butambala mpale kuba omusajja yenna kimwanguyira okukuba maapu mu birowoozo ng’alabye ku mukyala.

Akaboozi!

Abawala bagamba nti bwe kituuka ku nsonga y’akaboozi, banguyirwa nnyo okwetema sipeeya era y’emu ku nsonga lwaki bakoowa okwambala empale.

Ssenga Kawomera era agamba nti waliwo abamu nga kigweera mu mmotoka, abamu mu ttooyi, abalala ku muzindaalo mu kiraabu era abamu olw’okusuubira ekikolwa essaawa yonna, eby’okwambala empale babikoowa.

Okussa obulungi!

Ssenga Kawomera agamba nti okwawukanako n’abasajja, abakyala betaaga empewo ennungi, okuwa omukisa ebitundu by’ekyama okussa n’okuwunya obulungi.

Agamba nti abawala abamu bakoowa okwambala empale kuba balowooza nti kiremesa ebitundu byabwe okussa obulungi.

Okubasala!

Abamu bagamba nti empale z’omunda zibasala mu bitundu by’ekyama era y’emu ku nsonga lwaki bakizoowa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=snwhfvrpyUU