Musigansimbi munnansi wa China asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 20 lwa kwenyigira mu kutulugunya eyali omukozi we.

Sun Shujun okusibwa mu ggwanga lya Rwanda, kivudde ku vidiyo ebadde etambuzibwa ku mikutu migatta bantu, nga waliwo omusajja asibiddwa ku muti n’emiguwa ng’ali ku ttaka alajjana era yabadde asibiddwa akandooya, bamukuba emiggo.

Mungeri y’emu, omukozi Alexis Renzaho eyayambako Sun, okutulugunya eyali omukozi we, asibiddwa emyaka 12.

Sun, y’omu ku baludde mu ggwanga erya Rwanda mu kusima eby’obugagga by’omu ttaka era agamba nti omukozi gwe yabadde akuba, yali yenyigira mu kubba ebintu bye ng’ali ne banne okumala ebbanga ddene.

Bwe yasimbibwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi e Karongi, Sun nga musajja yinginiya, yasingisiddwa emisango gy’okutulugunya omuntu n’okweyambisa ekibonerezo ekisukkiridde mu August, 20021 mu bitundu bye Mukura cell mu disitulikiti y’e Rutsiro.

Mu kkooti, omulamuzi alagidde Sun ne Renzaho, okusasula omusajja eyakubwa obukadde bwa ssente ze Rwanda 7,500,000.

Wadde Sun asindikiddwa mu kkomera, ekitebe kya China mu ggwanga erya Rwanda, bafulumiza ekiwandiiko nga betoonda ku ffujjo eryakoleddwa Sun.

Mungeri y’emu balabudde bannansi ba China, okukomya okutwalira amateeka mu ngalo wabula okweyambisa ebitongole omuli Poliisi okuyambibwa singa bafuna okusoomozebwa kwonna.

Ate Omukulembeze w’eggwanga erya Ukraine Volodymyr Zelensky agambye nti obutaba na byakulwanyisa bya mutindo, y’emu ku nsonga lwaki bakyalemeddwa okusindikiriza Bakkomando ba Russia mu kibuga Mariupol.

Zelensky agambye nti engeri ziri 2 zokka ez’okuddamu okwediza ekibuga Mariupol omuli okufuna eby’okulwanyisa okutimpula bakkomanda ba Russia n’okweyambisa okuteeseganya, Russia kwakyagaanye.

Mungeri y’emu agambye nti omuwendo gw’abannansi, abadduse ekibambulira ekya Russia okulumbagana ekibuga Mariupol, omuwendo tegumanyiddwa wabula kigambibwa, abamu bawambiddwa nga bagezaako okudduka.

Pulezidenti Zelensky

Zelensky era agambye nti okuzuula abantu abattiddwa kukyagenda mu maaso n’okunoonya abafunye ebisago, okuyambibwa.

Asabye buli nsi eyinza okumuwa eby’okulwanyisa, okutimpula Russia, okutaasa bannansi abali mu ddukadduka ssaako n’okuttibwa mu nsi yaabwe.

Kigambibwa, abantu abasukka mu 10,000 battiddwa olwa Russia okulumba Ukraine nga 28, Ogwokubiri, 2022.