Poliisi mu ggwanga erya Nigeria ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okutta omuntu nga basangiddwa n’omutwe ssaako n’amaggulu.

Abakwate nga bonna basajja, bali wakati w’emyaka 30-40, basangiddwa mu bitundu bye Kwara.

Bano okuli Wasiu Omonose ne  Akanbi Ibrahim, kigambibwa benyigidde mu kutta omuntu, okutambuza emirimu gyabwe egy’okusaddaaka.

Abakwate ku Poliisi

Okusinzira ku muddumizi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Okasanmi Ajayi, abakwate babadde ku Pikipiki nga balina ekisawo era nga bagezaako okudduka.

Poliisi mu kwekebejja ensawo, musangiddwamu omutwe, amaggulu, nga biteekeddwa mu kaveera, nga byonna bijjudde omusaayi nga biraga nti omuntu abadde yakattibwa.

Abakwate, bagamba nti baliko omugagga eyabatumye omutwe n’amaggulu wabula bakyagaanye okwatuukiriza amannya ge.

Poliisi egumizza abatuuze okusigala nga bakakamu, era okunoonyereza okuzuula omuntu eyattiddwa, kuli mu ggiya nnene.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gr2pGlbDBFk&t=646s