Ate Poliisi mu Nigeria eri mu kunoonya omugagga eyawadde omukyala ensimbi, embwa ze okumukozesa mu ngeri y’okusinda omukwano.

Mu Nigeria, vidiyo eyongedde okutambula ku mikutu migatta bantu omuli TikTok, ng’omuwala ate nga muwala muto ali mu kwegata n’embwa.

Mu vidiyo, omuwala agamba nti omugagga yamuwadde, 1,100,000 eza naira (N1.1 million) okwegadanga n’embwa ze.

Mungeri y’emu agamba nti olw’okunoonya ssente nga tezirabika, y’emu ku nsonga lwaki kyamwanguyidde, okusanyusa embwa z’omugagga.

Wabula Poliisi egamba nti erina okunoonya omugagga eyawadde omukyala ssente okwebaka n’embwa ze.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga eryo, Muyiwa Adejobi, Poliisi erina okunoonya omukyala ssaako n’omusajja omugagga nga kimenya mateeka omuntu yenna okusinda omukwano n’ekisolo mu nsi yaabwe.

Poliisi egamba nti singa emisango gibakka mu vvi, omukyala n’omugagga, bayinza okusibwa emyaka egisukka 14.

Wabula abamu ku bannansi be Nigeria, bagamba nti wadde omuwala munnansi we Nigeria, kiteeberezebwa nti omugagga, embwa ne vidiyo, tebyakoleddwa mu Nigeria munda.