Kyaddaki Gavumenti evuddeyo ku ky’okusaba ssente emitwalo 50 ku bannayuganda abetaaga enkyukakyuka ku Ndaga muntu z’eggwanga, nga baagala okukyusaako ebintu ebimu.

Omwezi oguwedde, omubaka we Nakaseke South Lutamaguzi Ssemakula, bwe yali mu Palamenti y’eggwanga, yategeeza nti ekitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa Bannansi ekya National Identification and Registration Authority (NIRA), bali mu ntekateeka okulinyisa ssente okuva ku mitwalo 5 okudda ku mitwalo 50 ku bannayuganda abetaaga Ndaga muntu.

Wabula mu Palamenti akawungeezi ka leero ebadde akubirizibwa amyuka sipiika Thomas Tayebwa, Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi, agamba nti abantu bokka abetaaga okukyusa ennaku z’obuzaale, bebali mu kutesaako okulinyisa okudda ku mitwalo 50.

Gen. Muhoozi

Gen. Muhoozi, agamba nti okunoonyereza kulaga nti waliwo abakozi ba Gavumenti abakyusa ennaku z’obuzaale nga batya okulaga nti bakuze okwebalama okuwumula nga n’abaagala okukyusa okudda obuto, wakati w’emyaka 25 kwa 38 beyongedde obungi.

Mungeri y’emu agamba nti ddukadduka eyali mu ggwanga lino, bangi ku bannayuganda abaafuna Ndagamuntu, ennaku z’obuzaale, zaali za kuteebereza nga singa bayongeza okudda ku mitwalo 50, kyakuyamba okukendeza, abakyusa ennaku z’obuzaale.

Eddoboozi lya Gen. Muhoozi

Mungeri y’emu omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Esther Naluyima agamba nti bannayuganda bonna abasooka okufuna Ndagamuntu, mu Desemba, 2024 zigenda kugwako, nga yebuuza entekateeka ya Gavumenti.

Sipiika Tayebwa

Amangu ddala ne sipiika Thomas Tayebwa naye agamba nti bannayuganda bangi abali mu kweyambisa Ndagamuntu mu kutambuza emirimu gyabwe omuli n’okufuna ebbanja mu bbanka, kwe kusaba Minisita Gen. Muhoozi okutegeeza eggwanga, nti singa zigwako, Munnayuganda aba takyali Munnayuganda?

Wabula Minisita Gen Muhoozi, asuubiza okwanukula ku nsonga ezo, sabiiti ejja ku Lwokuna nga 12, May, 2022, oluvanyuma lw’okwebuuza ku bakamaabe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=evTLripi3fc&t=511s