Kyaddaki Poliisi y’e Kira ekutte omukyala, mu katambi, akabadde katambula ku mikutu migatta bantu omuli WhatsApp, ng’aliko mutabani we, gwe yabadde akuba.

Mu katambi, omukyala yakubye omutabani empi, okumusika amatu, okwagala okumutuga, oluvanyuma yamukubye omwana ku luggi era amangu ddala, omwana yazirikiddewo, okutuusa baneyiba webavuddeyo okutaasa.

Wabula mu kunoonyereza, Poliisi ekutte omukyala oyo, Deborah Apolot, nga mutuuze we Kisaasi mu Kampala eyabadde akuba omutabani myaka 10.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti omukyala akwattiddwa era okunoonyereza kutandikiddewo.

Owoyesigyire agamba nti Apolot ategezezza nti yabadde awadde omwana shs 5,000 olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku makya okukima ebintu ku dduuka, omwana teyakomyewo.

Agamba nti mu kunoonya omwana, yamusanze ali muzannyo era olw’obusungu, y’emu ku nsonga lwaki yakubye omwana.

Ku Poliisi, Apolot asabye okusonyiyibwa era Poliisi egamba nti eri mu kunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko embeera.

Mu kiseera kino omwana, ali ne kitaawe awaka.