Kyaddaki Omuyimbi Sheebah Kalungi, ayogedde omusajja eyamukabasanya bwe yali agenze ku kivvulu ekimu ku wikendi ya sabiiti ewedde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Sheebah, aguddewo omusango era awadde obujjulizi bwonna, bw’abadde alabiseeko ku kitebe kya Bambega e Kibuli.

Enanga agamba nti Sheebah, alambuludde embeera yonna eyamutusibwako, eyamuswaza mu maaso ga bakozi be.

Mungeri y’emu asambaze ebirudde nga biyitingana ku mikutu migatta bantu nti munnamawulire Omugundivu Andrew Mwenda, yeyakwata ku nva ze nga tazimuwadde.

Enanga agamba nti Poliisi yaabwe e Kibuli, etandiise okunoonyereza era agumizza Sheebah okufuna obwenkanya ku mbeera eyamutusibwako.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/05/Enanga-Sheebah.mp3
Eddoboozi lya Enanga

Kinnajjukirwa nti sabiiti ewedde, Mwenda yasaba Poliisi okuvaayo okunoonyereza okuyamba ku Sheebah eri omusajja eyamukabasanya.
Mwenda okuvaayo n’okulaga nti ddala musajja si mwangu, kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki Sheebah yeetutte ku Poliisi okuwaayo amawulire.