Eby’entambula bitaataganye okumala akaseera akawera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gayaza, Poliisi bw’ebadde yezooba, n’eyaliko Pulezidenti w”ekibiina ki FDC Dr. Kizza Besigye, akedde okubiteekamu engatto, okuzuukusa bannayuganda olw’ebbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya, omuli Sukaali, Sabuuni, omuceere, Buto, n’ebirala.

Olunnaku olw’eggulo, ebitongole ebikuuma ddembe, byavudde maka ga Besigye e Kasangati gy’abadde asibiddwa okumutangira okutambula okumala ennaku 6 bukya akwatibwa sabiiti ewedde ku Lwokuna.

Wabula Besigye nga ye Pulezidenti w’ekisinde ki People’s Front for Transition, enkya ya leero, nga yegatiddwako abantu ab’enjawulo omuli Walter Lubega Mukaaku, bakedde ku luguudo okuyingira ekibuga.

Besigye asobodde okweyambisa emmotoka ye ekika kya Toyota Land Cruiser enjeru namba UAN 661V, kwe yateeka ebyuma ku ndabirwamu zonna, okulemesa Poliisi okumala gamutuukako ssaako n’okwasa endabirwamu ze, okwagala okuyingira ekibuga.

Mu kusooka, Poliisi ebadde eremeddwa okumuyimiriza okweyongera, ng’abantu boongedde okusembera ku nguudo okumwegatako ssaako n’abasuubuzi okuggala amaduuka gaabwe nga batya, ebiyinza okuddako singa Poliisi esalawo okweyambisa eryannyi wabula basobodde okuleeta kabangali ya Poliisi ne bagimukiika, okumulemesa okuyingira ekibuga.

Besigye, atambulidde ku mulamwa, ‘Muzuukuke” olw’embeera eyongedde okunyigiriza bannayuganda mu nsi yaabwe ng’ebintu byongedde okulinya, okulemwa okuzza abaana ku massomero, okufa enjala era asobodde okuwa abantu kaadi emyufu, okumwegatako, okulaga nti bakooye embeera mbi.

Wabula wadde akoze buli kimu, okuzukusa bannayuganda nga yeeyambisa obuzindaalo bu mukalakaasa obwateekeddwa ku mmotoka ye, Poliisi emukwatidde mu Katawuni k’e Kasangati.