Wuuno omugole asabbalazza abasajja ku mukolo gwe mbaga ye era kigambibwa bangi ku basajja ba X be, baasigadde banyenya mitwe.
Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mukutu ogwa Instagram, omugole yatuuse ku mukolo wakati mu ssanyu wabula enyambala ye, yatabudde bangi ku bantu.

Omugole wadde mukyala alina ffiga era alabika bulungi, yalonze olugoye okulaga maapu y’ebitundu by’ekyama era ku mukolo, bangi ku basajja, baasigadde banyenya mitwe.

Mu vidiyo, omugole alaga nti yabadde musanyufu nnyo nga tafuddeyo ku bantu wabula okusanyusa bba ne mikwano gye.

Mu nsi yonna, abakyala begumbulidde okwambala obugoye bwa kokoonyo era abamu bagamba nti, balina eddembe lyabwe okulaga ffiga zaabwe.

Ennyambala y’omugole, bangi ku basajja bavuddeyo okugyogerako, ” aaronkyere – What on earth do women want now, razak_abdul_razak – Aahh is it dat dese kind ladies don’t obey or Respec dier husband or boyfriend or dey don’t HV Dem all cuz I will never allow my gf to dress like dis in public 😮😢so sad, asare3920 – Nowadays some of our ladies no get shame ooo, mendez_cakson – Ladies want attention so they will do whatever it takes to get attention and validation from anywhere, andul1612 Does this go to church?”

Mu kwemulugunya kw’abantu, baasigadde bakyebuuza oba ddala omugole bwatyo, asobola okugenda mu kkanisa?

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Wbck04TQ42w&t=88s