Entiisa ebuutikidde abatuuze mu ssaza lye Anambra mu Nigeria, omubaka wa Palamenti bw’atemeddwako omutwe.

Omubaka wa Palamenti akiikirira ekitundu ekyo Okechukwu Okoye, yawambibwa, bamukwata mmundu sabiiti ewedde.

Wabula ekiwuduwudu kizuuliddwa, ekyongedde okutabula abatuuze, abakulembeze ssaako n’ebitongole ebikuuma ddembe.

Okusinzira ku Gavana w’ekitundu ekyo, Charles Soludo ekikolwa eky’okutta omubaka wa Palamenti n’okumusalako omutwe, kikolwa kya butitiizi, kwe kusaba ebitongole ebikuuma ddembe, okunoonya abatemu.

Mu kiseera kino, tennavaayo wadde akabinja k’abantu abewaana okwenyigira mu kutta omubaka wa Palamenti newankubadde ebitongole ebikuuma ddembe, bitandikiddewo okunoonyereza.

Nigeria, ezze etawanyizibwa abatujju bakabinja ka Boko Haram era kigambibwa, bayinza okuba n’omukono ku by’okutta omubaka Okoye.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya South Africa, ezzeemu okusengula abantu mu bitundu bye KwaZulu-Natal, okutangira embeera y’amataba okuddamu okutta abantu.

Omwezi oguwedde, amataba gatta abasukka mu 400, ekyaleka nga bangi ku batuuze bafiiriddwa famire zaabwe ssaako ne mikwano gyabwe.

Amataba mu Gwokuna, 2022

Wabula lw’enkuba efuddemba okuva akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga, abakulembeze bakaanyiza okusengula abatuuze, okutangira eky’abantu okuddamu okufa singa amataba gaddamu okubalumbagana.

Okusinzira ku Meeya wa KwaZulu-Natal Kaunda, tewali alipoota yonna eweereddwa ku kivuddeko enkuba okweyongera okutonnya ennyo mu kiseera kino wabula abatuuze bagamba nti ezzeemu okwonona ebintu.

Ekyali mu KwaZulu-Natal mu Gwokuna, 2022

Bangi ku batuuze abaakosebwa omwezi oguwedde, bakyali mu mbeera mbi olw’amayumba gaabwe okusanyizibwawo nga ne Gavumenti eri ku ddimu ly’okuddamu okuzimba enguudo, amalwaliro ssaako n’amassomero.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bdG8ZOO8V5Y&t=17s