Kyaddaki Dr. Col Kizza Besigye atuukiriza ekirooto kye, okuyingira mu kibuga Kampala, mu Kampeyini gy’aliko, okuzukusa bannayuganda okubanja Gavumenti okendeza ku bbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya.

Besigye nga ye ssentebe w’ekisinde ki People’s Front for Transition asobodde okweyambisa emmotoka ye, ekika kya Toyota Land Cruiser enjeru namba UAN 661V, kwe yateeka ebyuma ku ndabirwamu zonna, okulemesa Poliisi okumala gamutuukako ssaako n’okwasa endabirwamu ze, okuyingira ekibuga.

Ekiri mu Kampala

Besigye ku mmotoka ye, okuteekeddwako obuzindalo bu mukalakaasa, obusibiddwa ebyuma, okulemesa Poliisi okubugyako, abasuubuzi balabidde awo, ng’atuuse mu Kampala.

Besigye eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki FDC nga yegatiddwako Walter Lubega Mukaaku, atuukidde kwa Arua Park, okuzuukusa abasuubuzi.

Enduulu y’okumwaniriza, abasuubuzi bavudde ku mirimu gyabwe okumwegatako era amangu ddala ne Poliisi etuuse, okumulemesa okweyongerayo.

Poliisi, yeegatiddwako amaggye ga Military, okutebenkeza embeera.

Besigye mu Kampala

Mu bigambo bye, agamba nti embeera mu Uganda, eyongedde okunyigiriza omuntu wa wansi, ekivuddeko bangi ku bannayuganda okuddukira mu nsi z’ebweru nga gye basuubira essuubi.

Mungeri y’emu agamba nti, ebbeeyi y’ebintu okweyongera okulinnya, buli muntu gy’ali akoseddwa.

Besigye wadde ayogedde ebigambo bye, abasirikale balemeddeko era baleese ekimotoka ekikuba tiyaggasi ne basika emmotoka ne bagitwala ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ng’ali munda ne banne.

Olunnaku olw’eggulo, Besigye yatabukidde Pulezidenti w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’ebbeeyi y’ebintu.
Agamba nti Pulezidenti Museveni okugaana okuggya omusolo ku bintu ebimu omuli sukaali, Omuceere, Buto n’ebirala, kabonero akalaga nti bangi ku bannayuganda tebalina ssuubi lyonna mu Gavumenti.

Museveni agamba nti Gavumenti yetaaga ssente okutambuza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda, ebyenjigiriza, ebyobulamu, okuzimba enguudo nga y’emu ku nsonga tebasobola kukendeza wadde okuggyako omusolo ku bintu ebimu.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=z_uBf6SkyZI