Aba bodaboda mu bitundu bye Salaama Road e Makindye bekozeemu omulimu ne banaaza omu ku banaabwe, abadde asukkiridde okuwunya.

Johnson Musinguzi ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze ku Salaama Road yakiguddeko.

Mikwano gwe, gigamba nti Musinguzi, abadde asukkiridde okuwunya nga bakasitoma, basukkiridde okwemulugunya.

Juma Kato nga naye avuga bodaboda e Makindye, agamba nti Musinguzi bamulabudde ebirundi mingi okunaaba nga tawulira era y’emu ku nsonga lwaki balemeddeko okumunaaza.

Kato agamba nti olw’okutaasa omulimu gwabwe, y’emu ku nsonga lwaki bekozeemu omulimu, Musinguzi okumunaaza.

Musinguzi ng’anaaba

Oluvanyuma lw’okunaazibwa, bamuwadde engoye empya ssaako n’engatto.

Mu kunaaza Musinguzi, abakyala bakubye enduulu ssaako n’okusakanya nga bagamba nti, “OMG omusajja ng’alina waya, kyokka musajja alina work, kyokka tayagala kunaaba”.

Abamu bagambye nti omusajja nga tanaaba, kiba kizibu omukyala yenna okumwagala kuba kiba kizibu nnyo okusinda omukwano n’omuntu ng’awunya.

Wabula omu ku bakyala ategerekeseeko erya Ateenyi, kigambibwa y’omu ku bakyala Bamalaaya mu kitundu ekyo, wakati mu kusakaanya, akutte ku yinki 9 ya Musinguzi era alabiddwako nga yenna ayiika endusu.

Musinguzi abadde musanyufu nnyo era siimye banne okumunaaza era asuubiza okunoonya banne okunaazibwa.

Agamba nti okutya amazzi, y’emu ku nsonga lwaki abadde yakoowa okunaaba.

Muzeeyi Kityo omu ku batuuze b’e Makindye agamba nti bakooye abantu bonna abali mulimu gwa bodaboda nga bawunya.

Kityo agamba nti abantu bangi abali mulimu gwa bodaboda olw’okunoonya eky’okulya naye nga basajja bayivu nnyo nga kiswaza abasajja nga Musinguzi okuvumaganya omulimu gwabwe.

Mungeri y’emu Muzeeyi Kityo agamba nti kati ye ssaawa n’okunoonya abantu bonna abakyamu abali mulimu gwa bodaboda, babagobemu.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=z_uBf6SkyZI