Ekiyongobero kibuutikidde abalamazi, emmotoka bw’ekoonye omu ku banaabwe ne muttirawo emisana ga leero.

Jovita Tukahiirwa myaka 54 yattiddwa ng’atomeddwa emmotoka ekika kya Toyota Harrier namba UBH 186F ku luguudo lwe Kampala – Mbarara.

Omugenzi, y’omu ku balamazi  abasukka 40 abasimbudde okuva mu kigo kye Kitwe mu disitulikiti y’e Ntungamo, okwetaba ku bikujjuko by’okujjukira abajjulizi abattibwa nga 3, omwezi ogujja Ogwomukaaga mu disitulikiti y’e Wakiso.

Wabula wakati mu kutambula nga batuuse mu katawuni k’e Akagate, emmotoka emukubye n’emutirawo.

Wakati mu kulukusa amaziga, abalamazi bagamba nti munaabwe, abadde akulembeddemu okutambula era bw’ayabadde okusala ekkubo, emmotoka wemukubidde.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kiruhura,  Joel Komaketch, ddereeva akoze akabenje akwattiddwa n’emmotoka etwaliddwa ku Poliisi yabwe.

Komaketch mu ngeri y’emu alabudde abalamazi, obutamala gasala kkubo nga bangi ku bbo, bavudde mu byalo, tebategeera mbeera ya kibuga.

Ate Pasita Samuel Kalibbala, eyakwattiddwa sabiiti ewedde ku Lwokutaano nga 27, March, 2022 Poliisi y’e Mityana, aguddwako emisango gy’okukusa abantu omuli n’abaana abato.

Pasita Kalibbala yali anoonyezebwa kumpi sabiiti 2 ku misango gy’okubuzaawo abagoberezi abasukka mu 20 ab’ekkanisa ye.

Yakwatibwa n’abantu 12 ku kyalo Naama mu ggoombolola y’e Busimbi mu Monicipaali y’e Mityana.

Okusinzira ku batuuze, Pasita Kalibbala, mukyala we, abaana ssaako n’abagoberezi, baali bageenda okuva ku kyalo Naama sabiiti ezigenda mu 2, ekyayongera okutiisa abantu nga n’amassimu gaabwe gagiddwako.

Pasita Kalibbala yali musajja musomesa wa  pulayimale n’omukyala wabula basuulawo emirimu gyabwe, okudda mu kusumba endiga.

Rachael Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala omuli Mityana, agambye nti Pasita Kalibbala wadde aguddwako emisango gy’okukusa bantu omuli n’abaana abato, n’abantu bonna be yali yatwala bazuuliddwa.

Kawala agamba nti Poliisi eyungudde basajja baayo okwongera amaanyi mu kunoonyereza okuzuula ekituufu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hvbNgOWztLI