Poliisi ekutte abantu 16 nga bonna basajja ate bonna bavubuka ku misango gy’okutambuza enjaga, okutunda ssaako n’okunywa.

Mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi n’amaggye ku kyalo Dangalo Cell mu Tawuni Kanso y’e Igayaza mu disitulikiti y’e Kakumiro, abakwate basangiddwa n’ensawo 8 ez’enjaga ssaako n’emisokoto gy’enjaga.

Bonna abakwatiddwa, batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kakumiro.

Wabula Resident District Commissioner-RDC we Kakumiro, Major David Matovu agamba nti abantu abo abenyigidde mu kunywa enjaga, baludde nga benyigira mu kutigomya abatuuze omuli okunyakula ensawo z’abakyala, okukwenyigira mu kumenya amayumba, okusobya ku bakyala era nga bangi ku batuuze batya okutambula n’okusingira ddala obudde bw’ekiro.

John Baruri, Kansala wa LC 3 mu Tawuni Kanso y’e Igayaza asabye Poliisi n’amaggye okwongera ebikwekweeto, okunoonya abantu bonna baludde nga batigomya ekitundu.

Ate Poliisi eri mu kunoonya omukyala omuzaalisa w’oku kyalo Ndeeba mu disitulikiti y’e Kakumiro, ku misango gy’omuwala myaka 23, okufiira mu ngalo ze.

Omukyala anoonyezebwa, ategerekeseeko erya Mujwalampale ku by’okusembeza omuwala Christine Ndyahabwe abadde omutuuze ku kyalo Kisoolo mu ggoombolola y’e Kasambya okuzaalira makaage.

Okunoonyereza kulaga nti ku Ssande ekiro, Ndyahabwe bamutwala okuzaala wabula yafa ekiro ekyo, olw’omusaayi omungi ogwamuvaamu.

Bba w’omugenzi Geresiano Asiimwe, agamba nti mukyala we yazaala abaana basatu (3) abasooka nga balongoosa mulongoose wabula Mujwalampale, yamutegeeza nti ku mulundi, omukyala ku myaka 23, akyali mwana muto okulongoosebwa, kwe kusuubiza okumuzaalisa obulungi.

Okusinzira ku ssentebe wa LC 5 mu ggoombolola y’e Kasambya Joseph Washington Segoza, omukyala Mujwalampale si musawo wabula aludde ng’alimba abakyala abali embutto nti kafulu mu kuzaalisa abakyala era bangi ku bakyala, badduse malwaliro ne bazaalira makaage.

Ate addumira Poliisi mu kitundu ekyo, Edgar Kulaigye agamba nti Mujwalampale, yadduse, nga mu kiseera kino aliira ku nsiko ku misango gy’okuviirako omuntu okufa.

Wabula RDC we Kakumiro Rtd Major David Matovu, agamba nti bakooye abakyala abasukkiridde okwefuula nti bazaalisa mu byalo nga si basawo era ye ssaawa, okwongera amaanyi mu kusomesa abatuuze.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hvbNgOWztLI