Omumyuka wa ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi alaze nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulaga nti alumirirwa be, y’emu ku nsonga lwaki ali mu NRM.
Kiwanda nga yaliko minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi mu ggwanga, Museveni yamusuula mu kabinenti empya, oluvanyuma lwa kalulu ka 2021.
Ku myaka 48, Kiwanda abadde awagira NRM emyaka egisukka 20 era mu kiseera ng’ali mu Palamenti ng’omubaka we mityana North, yali ku kaadi ya NRM.
Kiwanda okumyuka ssentebe wa NRM mu Buganda, alina entekateeka okuggya abantu mu bwavu mu kampeyini gye yatuuma ‘KISOBOKA’.

Bwe yali ayogerako eri bannamawulire ku ntekateeka ya ‘KISOBOKA’, yategeeza nti pulogulamu eno eya KISOBOKA agenda gitalaaza ebitundu bya Buganda byonna okumala ebbanga lya myaka 5 nga okusinga agenda asomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisa obwavu, okwekulakulanya okuteeka amaanyi mu bulimi obuleeta ssente n’okubanyonyola enteekateeka za NRM zonna.
Kiwanda era agamba nti abantu balina okulya obulungi kuba kiyambako mu kulwanyisa endwadde ez’enjawulo. Mu ntekateeka ya Kisoboka, agamba nti balina okusomesa abantu okulima enva endirwa kuba ziyambako nnyo mu kutangira endwadde.
Lwaki alemedde ku NRM!
Kiwanda agamba nti Gavumenti ya NRM esobodde okuteekawo embeera, abantu okunoonya ssente okulwanyisa embeera mbi.
Agamba nti Pulezidenti Museveni asobodde okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga lyonna, okusobozesa abantu okukola emirimu gyabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hvbNgOWztLI