Omusajja owa bodaboda ali mu myaka 35 awonye emiggo gy’abatuuze, omugagga bw’amukutte lubona ne mukyala we mu kaboozi.
Owa bodaboda atadde muk’omugagga mu ntebe era omusajja abakutte omukyala ali kusikondoka olw’omusajja okumusimba waya yinki 10.
Omugagga nga mutuuze we Bunga ku luguudo oluva e Kampala okudda mu Ggaba, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, yafunye owa bodaboda ategerekeseeko erya Juma, okutwala ebintu awaka omuli enkota z’amatooke.
Omugagga agamba nti abadde yafuna dda amawulire nti Juma ayagala mukyala we era bwe yamuwadde ebintu okubitwala awaka, yasobodde naye okweyambisa bodaboda okumulondoola.
Agamba Juma yayingidde ggeeti y’awaka era nga wayise eddakika 15, naye yasazeewo okuyingira ennyumba kyokka yaguddewo ekigwo bwe yatuuse mu nnyumba nga mukyala we agiwadde Juma mu ntebe z’omu kisenge.
Omugagga wakati mu kulukusa maziga, agamba nti abadde tasuubira nti mukyala we asobola okumuswaza okudda ku musajja wa bodaboda ate mu kisenge kye.
Bwe yabadde agezaako okulumba Juma okulwanagana, yafune obuzibu kuba mulwadde wa Puleesa era amangu ddala zalinye ne bamutwala mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.
Mu kiseera nga abatuuze bakung’aana okwekeneenya embeera, owa bodaboda Juma yasobodde okudduka okwewala emiggo gy’abatuuze ate omukyala yeesibidde mu kisenge, kwe kulagira asikaali, okufulumya abantu bonna mu bwangu.
Ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, omusajja yakomyewo awaka ng’ali mu mbeera nnungi ate ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, omukyala yalabiddwako ng’afuluma ggeeti ng’ali mu mmotoka ye ekika kya Toyota RAV4.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vAwo_D_0LNA