Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) Dr. Col Kizza Besigye, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.

Besigye eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino emirundi 4 ne Samuel Lubega Mukaku nga naye yavuganyako ku bukulembeze bw’eggwanga lino, akawungeezi ka leero ku ssaawa 12, basimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi wa kkooti esookerwako Buganda Road Asuman Muhumuza.

Bonna, basindikiddwa ku limanda okutuusa nga 18, June, 2022.

Wabula bannamateeka be nga bakulembeddwamu omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, basabye omulamuzi Muhumuza abantu baabwe okweyimirirwa wabula omulamuzi, agaanye okusaba kwabwe ng’obudde bugenze.

Omulamuzi, abalagidde okudda mu kkooti ku Lwokutaano nga 17, June, 2022, okuwulira okusaba kwabwe.

Besigye ne Mukaaku baakwatiddwa, olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 14, June, 2022, nga bakomyewo mu Kampala okumpi ne Kikuubo, nga bazze okuddamu okuzukusa bannayuganda okwegata awamu, okubanja Gavumenti okeendeza ku bbeeyi y’ebintu ebyongedde okulinya omuli sukaali, Sabuuni, Omuceere, Buto, amafuta n’ebirala.

Wabula olusindikiddwa ku limanda nga bekwasa obudde nti bugeenze nga kivudde ku Poliisi okumutwala mu kkooti ekikeerezi, munnamateeka omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, akangudde ku ddoboozi.

Lukwago agamba nti omulamuzi Muhumuza agenda kumutwala mu kakiiko akabonereza abalamuzi olw’okweyisa mu ngeri etyoboola amateeka n’ekitongole ekiramuzi.

Besigye ne Mukaaku olusindikiddwa ku limanda, abamu ku bawagizi be bakwattiddwa, olw’okuwakanya ensala y’omulamuzi nga bali munda mu kkooti.

Bano, bawuliddwako nga bayimba ‘Shame on you’  era abakwatiddwa omuwendo tegumanyiddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=C3bKoYc-reQ