Essanyu libuutikidde munnakibiina ki NUP Joyce Bagala, kkooti bw’erangiridde nti ye omubaka omukyala ow’e Mityana, eyalondebwa mu kulonda okuwedde okwa 2021.

Wadde Bagala, yali alangiriddwa ng’omuwanguzi, munna NRM era minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba, yaddukira mu kkooti ng’awakanya obuwanguzi bwe.

Nga 2, October, 2021, omulamuzi wa kkooti enkulu e Mubende Emmanuel Baguma, yalagira baddemu olw’okulonda, kubigambibwa nti Bagala yenyigira mu gulirira abalonzi, okutiisatiisa ba Agenti ba Nabakooba ssaako n’abantu nga si balonzi, okwenyigira mu kulonda.

Wabula Bagala yaddukira mu kkooti ejjulirwamu ng’akulembeddwamu bannamateeka be, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ng’awakanya ensala y’omulamuzi Baguma, owa kkooti enkulu e Mubende.

Enkya ya leero, abalamuzi basatu (3) okuli Geoffrey Kiryabwiire, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake, bakedde kuwa nsala yaabwe ne bakaanya nti Joyce Bagala, ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mityana omulonde.

Mu ssanyu, Joyce Bagala asiimye bannamateeka be, abalonzi b’e Mityana ssaako ne bannakibiina kye, okumulaga omukwano okutuusa lw’awangudde.

Ate munnamateeka omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, ajjukiza abali mu Gavumenti, nti NRM yekyasinze okweyambisa ssente nga bagenze mu kalulu nga kiswaza ate okulumba abali ku ludda oluvuganya.

Mu kulonda, Joyce Bagala yafuna obululu 64,305 ate Nabakooba yamalira mu kyakubiri (2) n’obululu 48,078 nga bamusiiga obululu 16, 227 kwe kuddukira mu kkooti, yekwasa obusongasonga obulala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dfI8EfqsOc0