Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akuddalidde abaludde nga batambuza ebigambo nti NUP kibiina kya muyaga ekiri mu kuzuunga obuzuunzi, ekigenda okusaanawo mu bbanga ttono.

Kyagulanyi agamba nti buli muntu wadde okutambuza ebigambo, naye engeri gye bakuttemu ensonga, bangi bagenda kuswala nga NUP ekutte obuyinza okulembera eggwanga lino.

Bobi Wine ng’ayogerako eri bannakibiina

Kyagulanyi, omuwanda omuliro, abadde eggulawo ekifo, ekyaguliddwa ekibiina ki NUP e Makerere Kavule mu Divizoni y’e Kawempe, awagenda okuzimbibwa ekitebe kye kibiina.

Eddoboozi lya Bobi Wine
Mpuuga naye awadde bannakibiina enseko

Ate omubaka we Nyendo-Mukungwe e Masaka era nga yakulira oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga Mathias Mpuuga Nsamba, agamba nti ekibiina kyabwe kya bantu, kitambulira ku maanyi g’abantu era n’okukikuuma, omulimu guweereddwa bannakibiina.

Mpuuga era agamba nti ekibiina ki NUP kyakamala omwaka gumu naye basobodde okufuna amaka ng’akabonero akalaga nti bali mu kwetekateeka kukwata buyinza.

Agamba nti ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) mu myaka egisukka 30, balemeddwa okuzimba ekibiina wabula bakoze kimu kwenyigira mu kubba ssente z’eggwanga nga mu myaka 30, bakyapangisa.

Eddoboozi lya Mpuuga

Mu kutongoza ekifo, omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli abakiise ba Palamenti, Bakansala ssaako ne bannakibiina abavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi

Wabula omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, agamba nti abantu okweyongera okwagala ekibiina kyabwe, obuwagizi bweyongedde nga y’emu ku nsonga lwaki, babadde balina okunoonya amaka.

Ssenyonyi agamba nti olw’obungi bw’abawagizi, Kamwokya abadde takyamala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=QzHYtz3BwOI

Bya Nalule Aminah