Abantu 20 battiddwa mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo ate bangi bawambiddwa, ekyongedde okutiisa bannansi.

Okusinzira ku kibiina ky’amawanga amagate, abattiddwa kuliko n’abaana abato ssaako n’abalwadde 4 abaasangiddwa mu kkanisa, mambuka g’essaza Kivu, ekkanisa ne bagikumako omuliro.

Kigambibwa, obulumbaganyi bwakoleddwa abatujju abekuusa ku bayekera bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF), abali mu ggwanga eryo.

Abamu ku bannansi, bagamba nti okulwanagana kukyali kw’amaanyi bambuka g’essaza Kivu ng’amaggye g’eggwanga ssaako n’ekibiina ky’amawanga amagate, bagezaaako okulwanyisa abatujju.

Mu kitundu ekyo, obulumbaganyi bw’atandiise sabiiti ewedde ku Lwokuna, bamukwatammundu webalumbye akalwaliro ku kyalo Lume ne batta abantu abawerako ne baleka abalwadde 4 nga bakumiddwako omuliro munda mu ddwaaliro.

Abakulu mu kibiina ky’amawanga amagate, bagamba nti bangi ku batuuze, basenguse, ennyumba zaabwe zikumiddwako omuliro, bangi bawambiddwa ate ng’abatujju beyongedde obukambwe.

Okunoonyereza kulaga nti abaana abasukka 40 tebalabikako era kigambibwa batwaliddwa abatujju bakabinja ka ADF oba M23, abaludde nga batawanya eggwanga lyabwe.