Kabinenti ya Uganda eri mu kuteesa ku nsonga y’okuwera eky’okutwala bannayuganda abagenda mu nsi z’ebweru ku kyeyo (Bakadaama), nga bayitidde mu Kampuni ez’enjawulo.
Okusinzira ku Minisita w’ekikula ky’abantu n’emirimu, Betty Amongi Akena, bannayuganda abakaaba nga bagenze mu nsi z’ebweru, beyongedde, ekyongedde okutiisa abakulu mu Gavumenti.
Minisita Amongi agamba nti, emisango gy’abakozi abatulugunyizibwa mu Buwarabu n’ensi endala gyeyongedde obungi omuli abakozi b’awaka okubasobyako nga n’ebikolwa, eby’okubagyamu ebitundu by’omunda omuli ensigo, emisango gyeyongedde.
Minisita Amongi bw’abadde asisinkanyeko abakulira Kkampuni ezitwala abakozi mu kyeyo (Bakadaama) mu Kampala, agamba nti Kabinenti eyatudde nga 4, omwezi guno Ogwomusanvu, 2022 eyali ekubirizibwa ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, baalemwa okukwatagana n’okukaanya ku nsonga y’okutwala abakozi mu nsi z’ebweru.
Amongi agamba nti olwa bannayuganda okweyongera okukaaba, abamu ku Baminisita bagamba nti balina okuwera eky’okuddamu okutwala bannayuganda ku kyeyo, abalala bagamba nti okuyimiriza Kampuni okutwala abakozi b’omu nju (House Girls) ate abamu bagamba nti Kampuni ezitwala abakozi ku kyeyo, zirina okwongera amaanyi mu kunoonyereza n’okulondoola abakozi nga batwaliddwa.
Minisita Amongi agamba nti mu kiseera kino balina kwebuuza ekirina okukolebwa okusobola okwanjulira Kabinenti ekisaliddwawo ku nsonga y’okutaasa abakozi abali ku kyeyo (Bakadaama).
Uganda mu kiseera kino erina kkampuni 276 ezitwala bannayuganda ku kyeyo.
Ebirala ebifa mu ggwanga Uganda – https://www.youtube.com/watch?v=ZSGdu9zCK7s