Omwana Julius Wasswa myaka 4, ali mu maziga olw’embwa okumuluma obusajja.
Maama wa Wasswa, Oliver Ariyo nga mutuuze we Nalulabye mu Kampala, asangiddwa mu Kampala ng’onoonya buyambi okutwala omwana mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.
Maama agamba nti mutabani we balina okumulongoosa ebitundu by’ekyama nga y’emu ku nsonga lwaki ali mu kunoonya ssente okuva mu bantu ab’enjawulo.
Wakati mu maziga, agamba nti omwana yamuleka mu nnyumba nga yeebase okugenda okugula ku mmere kyokka yagenda okudda ng’omwana ali mu maziga.
Agamba nti balirwana be bamugaamba nti balabye embwa okuva mu nnyumba era baali balowooza nti ne maama naye ali mu nnyumba.
Okwekebejja omwana nga yenna atonnya musaayi, embwa emulumye ebitundu by’ekyama, akasolo kasigaddeko ka kikuggu nnyo.
Nga maama, baddusa omwana mu ddwaaliro e Bombo okufuna obujanjabi, abasawo kwe kumusaba obukadde (6), okulongoosa omwana akasolo.
Bw’abadde awayamu naffe, agamba nti akyanoonya ssente okutaasa mutabani we.
Ate abatemu abatamanyiddwa balumbye abasirikale nga bali ku luguudo lwe Kampala – Gulu ne batematema abasirikale ne batwala emmundu zaabwe.
Kigambibwa, ku misanvu gya Poliisi ku kyalo Kiwampa okumpi ne Tawuni Kanso y’e Luweero, kubaddeko abasirikale babiri (2) mu kiseera abatemu webalumbidde.
Omu ku batuuze Abisafu Kawuma, abaddewo nga bigenda mu maaso, agamba nti abasajja nga bali mu ngoye eza buligyo bazze nga bakutte ejjambiya era batandikiddewo okutematema abasirikale abasangiddwa nga bali ku mirimu gyabwe.
Kawuma agamba nti omu ku basirikale, asobodde okudduka okuyingira enimiro olw’okutaasa obulamu era amangu ddala omusirikale agyeemu Yunifoomu, naweebwa engoye z’abantu babuligyo, okwetangira abatemu okumulaba.
Abatemu, oluvanyuma lw’okutematema abasirikale, waliwo emmotoka ebadde epakinze ebbaali etambuza ebyamaguzi, bagikumyeko omuliro ne badduka ne bagenda.
Omusirikale addukidde mu nsiko, tusobodde okufuna eddobozi lye ng’ali mu kulajjana.
Poliisi n’amaggye webatuukidde nga bakulembeddwamu addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero Living Twazagye nga kituufu, omusirikale amaze okufa.
Omulambo gukyali mu ddwaaliro ekkulu e Luweero nga Poliisi n’amaggye, batandiise okunoonya abatemu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vm4RK2QuwlE