Omuntu omu attiddwa mu bukambwe, bw’akubiddwa amasasi mu disitulikiti y’e Luweero.

Musa Katinda Bisaso myaka 45 abadde mutuuze ku kyalo Tweyanze mu ggoombolola y’e Katikamu yattiddwa mu kiro ky’olunnaku Olwokutaano.

Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah agambye nti abatemu baalumbye Bisaso ku ssaawa 4 ez’ekiro mu makaage ne bamukuba amasasi 5 oluvanyuma ne baddukira mu lusuku lw’ebitooke.

Ssemwogerere agamba nti abasirikale okuva ku Poliisi y’e Wobulenzi webatuukidde nga Bisaso amaze okufa nga n’abatemu badduse.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi ezudde ebisosonkole by’amasasi bitaano (5) era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Eddoboozi lya Ssemwogerere

Nnamwandu Susan Namatovu, agamba nti bba Bisaso yabadde mu nnyumba era abatemu basoose kumukubira ssimu, okufuluma ebweru era amangu ddala yakubiddwa amasasi.

Namatovu agamba nti obutakaanya mu famire ku nsonga z’ettaka yiika 2.5  eyinza okuba emu ku nsonga lwaki yattiddwa.

Eddoboozi lya Namatovu

Ate Rashid Kabaale, akulira ebyokwerinda ku kyalo Tweyanze agamba nti Bisaso yafiiridde mu luggya nga bagezaako okumutwala mu ddwaaliro.

Kabaale n’abatuuze

Okusinzira ku Nnamwandu Namatovu, bba Bisaso amulekedde abaana 7.