Minisitule y’ebyenjigiriza mu ggwanga erya Kenya eragidde amassomero gonna, okuggalawo, abayizi okudda awaka n’okutandiika olunnaku olwaleero ku Lwokubiri.

Amassomero agamu, gabadde gasuubira okulagira abayizi okudda awaka okuva ku Lwokutaano lwa sabiiti eno, abamu wiiki ejja.

Wabula mu kiseera nga bannansi, bali mu kwetekateeka okulonda omukulembeze w’egwanga lyabwe, okudda mu bigere bya Uhuru Kenyatta, amassomero galagiddwa okulagira abayizi okudda awaka mu bwangu ddala.

Okusinzira ku Minisita w’ebyenjigiriza Prof George Magoha, abayizi bakuddamu okusoma sabiiti ejja ku Lwokuna nga 11, omwezi guno Ogwomunaana, 2022.

Minisita Prof. Magoha alagidde amassomero gonna abayizi okudda awaka mu kiseera ng’amassomero agamu, abayizi bakyali mu bigezo.

Mu Kenya, mangi ku massomero geyambisibwa akakiiko k’ebyokulonda okulonderamu era y’emu ku nsonga lwaki galagiddwa abayizi okudda awaka.

Mu kiseera kino Kampeyini zikyagenda mu maaso okutuusa ku Lwomukaaga, nga 6, omwezi guno Ogwomunaana ate sabiiti ejja ku Lwokubiri, nga 9, omwezi guno Ogwomunaana, lwe bagenda okulonda omukulembeze w’eggwanga lyabwe.

Wadde abesimbyewo bali 4, okuvuganya okwamaanyi kuli wakati wa William Ruto, amyuka omukulembeze w’eggwanga erya Kenya myaka 55 ne Raila Odinga myaka 77.

Ate abasajja abasukka mu 80 basimbiddwa mu kkooti ku misango gy’okusobya ku bakyala 8 kirindi mu ggwanga erya South Africa.

Abakyala bano, baasobezebwako sabiiti ewedde ku Lwokuna nga baali bakwata vidiyo y’omu ku bayimbi mu ggwanga eryo.

Abakyala bagamba nti abasajja babalumba nga bayambadde Masiki, kwe kubasobyako kirindi oluvanyuma ne batwala ebintu byabwe.

Mu kkooti, oludda oluwaabi, bakyalinda ndaga butonde, okuzuula abasajja abatuufu, abasobya ku bakyala abo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-LqORKcwKJ4&t=657s