Omusajja omulimi mu ggwanga erya Ghana awanjagidde bannansi okumuddukirira nga yetaaga ensimbi, okuloongosebwa, ebitundu by’ekyama.

Omusajja ono Kofi Atta myaka 47 yakutte akambe ne yeesala ekintu ku bitundu bye kyama bwe yabadde ali mu kirooto.

Agamba nti bwe yabadde atudde ku ntebbe, yasumagidde kwe kuloota ng’akutte ennyama asala, nga naye ekyebuuza engeri gye yakutte akampe, okuggya mutaka mu mpale, okusalako ekitundu.

Mu ddwaaliro agamba nti yasabiddwa ssente nga tazirina, kwe kusaba abantu okumuddukirira wabula bukeeredde  enkya ya leero ng’abakyala, bebakyasinze okumuddukirira, okulongoosa ebintu eby’enkizo.

Ate Poliisi e Nigeria ekutte abantu 3 ku misango gy’okutta abantu abasukka 20 okumpi n’ekibuga Benin mu ssaza lye Edo.

Poliisi ezudde emirambo gy’abantu 20 mu kiyumba ekigambibwa nti kirudde nga kyeyambisa abasawo b’ekinnansi aba voodoo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga eryo, Chidi Nwabuzor, ku mirambo 20 egizuuliddwa, 3 gy’abakyala, 15 gy’abasajja ate 2 baana bato.

Poliisi egamba nti tekimanyiddwa, engeri gye batibwamu, battibwa ddi ssaako n’okuzuula abantu abatuufu abenyigira mu ttemu eryo.

Kigambibwa, abantu bazze battibwa ne bakweka emirambo era Poliisi egamba nti etandiise okunoonyereza abatemu abaludde nga benyigira mu kutta abantu abo.

Abamu ku bazuuliddwa, ebitundu by’ekyama byasalibwako, okulembeka omusaayi gwabwe, ekyongedde okutiisa abatuuze.

Mu Nigeria, ebikolwa by’okusaddaaka abantu bizze byeyongera nga kivudde ku bantu okwagala okufuna obugagga obw’amaangu.

Mungeri y’emu omukulembeze w’eggwanga erya Sierra Leone, Julius Maada Bio alabudde bannansi, okwewala okudda ku nguudo mu ngeri y’okwekalakaasa.

Bannansi baludde nga bekalakaasa nga bawakanya ensonga ez’enjawulo omuli obuli bw’enguzi obusukkiridde, ebintu okweyongera okulinya ssaako n’ebitongole ebikuuma ddembe okweyongera okubatulugunya.

Mu kwekalakaasa, abantu 25 bebakatibwa omuli n’abasirikale 5.

Wadde Omukulembeze w’eggwanga Bio agamba nti wadde waliwo obuzibu n’ekitongole kya Poliisi, bannansi balabuddwa okwewala okudda ku nguudo.

Mungeri y’emu agamba nti bamu ku bannansi, bali mu ntekateeka z’okuvunika Gavumenti nga bawagirwa ekibiina ki All People’s Congress party.

Bio alabudde abekalakaasi nti kati bali ku misango gya kulya mu nsi lukwe singa badda ku nguudo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=AQv-2_Mp7Dw