Poliisi y’e Nansana ekutte ssemaka ne mukyala we ku misango gy’okusangibwa n’ebiwandiiko by’obuyigirize, ‘Number Plates’ z’emmotoka, Pikipiki, paasipooti z’abantu ab’enjawulo ssaako Densite z’abantu mu ngeri amenya amateeka.

Abakwate nga batuuze b’e Nabweru South kuliko Taliwane Akim n’omukyala Rahuma Nayembale era basangiddwa ne Densite ezisukka mu 500, Paasipoot z’abantu bangi nnyo ekitabudde ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti mu kusengula abantu abali mu ntobazi mu bitundu bye Lubigi akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu, y’emu ku nsonga lwaki ebintu ebyo byazuuliddwa.

Ebimu ku bizibiti

Mu kikwekweeto ekyatandika ku Mmande nga 22, August, 2022, ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde ki National Environment Management Authority (NEMA) bali mu Kampeyini y’okuggya abantu bonna abali mu ntobazi.

Mu kumenya ennyumba ya Taliwane eyabadde mu ntobazi, ebitongole ebikuuma ddembe kwe kuzuula ebintu ebyo.

Omu ku basirikale ku Poliisi y’e Lubigi agaanye okwatuukiriza amannya ge, agamba nti Densite ne paasipooti byazuuliddwa nga biteekeddwa mu kutiya ez’enjawulo nga biteekeddwa wansi w’ekitanda ate ‘Number Plates’ byazuuliddwa waggulu ku nnyumba.

Bizuuliddwa Poliisi

Mu sitetimenti ku Poliisi, omusajja Taliwane agamba nti si musajja mubbi wabula abadde afuna ebintu ebirondeddwa mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo era abadde agezaako okunoonya bannanyinibyo.

Eddoboozi lya Onyango

Onyango agamba nti wadde Poliisi etandiise okunoonyereza, bakwataganyeko n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga ki National Identification and Registration Authority-NIRA okuzuula ekituufu ku bakwate.

Rahuma Nayembale akwattiddwa

Mungeri y’emu agambye nti abakwate, bazuuliddwa mu kikwekweeto ekyakoleddwa ebitongole ebikuuma ddembe n’ekitongole ky’obutonde ekya NEMA mu kusengula abatuuze abasenga mu ntobazi mu bitundu bye Lubigi.

Poliisi egamba nti mu kumenya ennyumba, ebintu byazuuliddwa, ekyatabudde abali ku ddimu ly’okumenya.

Ebigambo bya Onyango

Mu kumenya olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, amayumba agasangiddwa mu ntobazi gamenyeddwa, amasabo 2, essomero lya Masanafu Islamic primary school, emidaala egy’enjawulo, ekyalese abasuubuzi nga basobeddwa n’okululusa ku maziga.

Abamu ku bavubuka bagamba nti eky’okumenya amayumba gaabwe, kabonero akalaga nti balina kudda mu kubba, okunoonya eky’okulya.

Bano mulimu abaludde nga benyigira mu kutunda enjaga, okunoonya ssente okutambuza obulamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=JJQR2AMoVoY&t=199s