Dr Stella Nyanzi ayongedde okulaga nti y’omu ku bakyala abalina omutima ogulumirirwa banakazadde b’eggwanga lino.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Dr Nyanzi yakulembeddemu abakyala mu kibiina, okulumba ekitebe kya Poliisi e Naguru nga basaba okusisinkana Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga, IGP Okoth Ochola okumutegeza ku kitta bakyala mu ggwanga lino n’okutema empenda mu ngeri Poliisi gy’egenda okutebenkezaamu embeera.

Wabula abasirikale tebabakiriza kuyingira kitebe kya Poliisi e Naguru ekyawaliriza amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango okubasisinkana.

Mu mbeere eyo, Dr Stella Nyanzi ne bakyala banne bayimbidde Onyango obuyimba obwenjawulo era Dr Nyanzi yakakasiza nti amatira nnyo Onyango era amwepikira.