Kkooti y’amaggye e Makindye erangiridde nga 20, September, 2022, okutandiika okuwuliriza emisango egivunaanibwa munnamaggye Lance Corporal John Nuwagira.

Mu kkooti, abadde ekubirizibwa ssentebbe Brig Gen Robert Freeman Mugabe, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu munnamaggye Lt. Alex Rasto Mukhwana, basobodde okutegeeza kkooti, nti bakomekereza okunoonyereza.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Lance Corporal Nuwagira yasiwuuka empisa nasendasenda mukyala wa mukamaawe Lt. Robert Turyahabwe era mbu yamukuba amanda.

Lance Corporal Nuwagira mu kkooti

Kigambibwa mu 2021, e Makenke mu disitulikiti y’e Mbarara Lance Corporal Nuwagira, yalaga obukugu mu nsonga z’omukwano bwe yasendasenda Annet Kobusingye, ne bakkiriza okutta ekyama.

Mu biseera ebyo, Lt. Turyahabwe yali asindikiddwa mu ggwanga erya Somalia nga ssenkulu w’akakiiko k’empisa eri bannamaggye abali mu ggwanga eryo ku nsonga y’okuzza emirembe.

Wabula yagenda okudda ng’omukyala Kobusingye takyamutegeera, ebisobooza abadde abigaba byonna bikulusanye.

Lance Corporal Nuwagira yakwatibwa nga 8, March, 2022 era mu kkooti, yegaana emisango gyonna wabula singa emisango gimukka mu vvi, ayolekedde okugobwa mu kitongole ky’amaggye, olw’okudda ku mukyala wa mukamaawe, okwesa empiki nga ye nannyini mukyala, ali mu Somalia empewo efuuwa.

Ate Maama asimatuse okuttibwa abatuuze, oluvanyuma lw’okutta omwana we myezi 2, omulambo nagusuula mu kabuyonjo.

Suzan Nabutsebi, myaka 23 nga mutuuze ku kyalo  Bunabwana mu ggoombolola y’e Buwatuwa mu disitulikiti y’e Namisindwa, yasimatuse okuttibwa abatuuze.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Bunabwana , Michael Wambwa, omukyala asobodde okulabiriza bba Nathan Mutungwa ng’atambuddemu, kwe kutuga omwana era amangu ddala yamusudde mu kabuyonjo.

Omusajja okudda okubuuza omwana nga taliwo, okubuuza omukyala nga tavaamu kigambo kyonna, okwekebejja mu kabuyonjo, ng’omulambo gw’omwana yagusudde munda.

Omusajja yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze nga bakutte ejjambiya, amayinja ssaako n’emiggo era omukyala yataasiddwa abasirikale, abaawulidde enduulu.

Wadde omukyala akwattiddwa, omusajja awanjagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza, okuzuula ekyasindikiriza omukyala okutta omwana.

Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti omukyala essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’okutta omuntu.

Poliisi egamba nti obutabanguko mu maka, eyinza okuba emu ku nsonga lwaki omukyala ku myaka 23, yasse omwana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q