Poliisi mu kibuga kye Mbale ekutte omusawo w’ekinnansi ku misango gy’okuwamba n’okusaddaaka omwana myaka 5.

Jamada Isiko myaka 30 nga mutuuze ku kyalo Cisse mu ggoombolola y’e Namatala mu kibuga Mbale yakwattiddwa.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Abed Gumono, taata w’omugenzi Lukman Musamba, yamutegeeza nti omwana abuze, nga zibadde zigenda mu sabiiti 3.

Ssentebe agamba nti abatuuze, baafunye okutegeezebwa nti omwana ayinza okuba yasaddakibwa, kwe kulumba omusawo w’ekinnansi Isiko.

Nga batuseeyo, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, abatuuze balabudde okutta Isiko okutuusa ng’ayogedde amazima ku by’okubula kw’omwana waabwe.

Isiko olw’okutya okuttibwa, yakulembeddemu abatuuze ne Poliisi, okubatwala mu ssamba ly’ebikajjo.

Omwana yazuuliddwa nga yattibwa era abadde yaziikibwa ku kinnya nga yasalwako ebintu eby’enjawulo nga n’omulambo gutandiise okuvunda.

Abasirikale baasobodde okutaasa Isiko okumuddusa ku Poliisi ku misango gy’okutta omuntu olw’abatuuze, nga balemeddeko okwagala okumutta.

Wabula Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti Isiko aguddwako emisango gy’obutemu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q