Poliisi mu bitundu bye Kiira ekutte Hudson Byansi omutuuze ku kyalo Idudi cell mu Tawuni Kanso y’e Idudi mu disitulikiti y’e Bugweri ku misango gy’okutta Prossy Nyanga myaka 33, omusuubuzi era omusituzi w’obuzito mu kibuga Jinja.
Kigambibwa ekiro ku Lwomukaaga, Byansi ne banne baakola obulumbaganyi ne bafumita ebiso omusuubuzi Nyanga bwe yabadde ava ku mulimu ku dduuka ly’ebitabo ku kyalo Budhumbuli cell e Bugembe ward mu kibuga kye Jinja.
Nyanga yafumitiddwa ebiso mu bulago, omugongo, n’olubuto era yafiiriddewo.
Mu kunoonyereza, Poliisi yakutte Byansi akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande okuva ku kyalo mu Tawuni Kanso y’e Idudi wabula banne baliira ku nsiko mu kiseera kino.
Mu kwekebejja ennyumba ya Byansi, Poliisi yazudde akambe okuli omusaayi n’amassimu 2 ag’omugenzi Nyanga.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, James Mubi, Byansi atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Jinja ku misango gy’obutemu.
Mubi era agamba nti Byansi abadde anoonyezebwa ku misango egy’enjawulo omuli egy’obubbi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q