Kyaddaki munnamawulire Diana Nabatanzi ali mu ssanyu mu kiseera kino oluvanyuma lw’okufuna omusajja kafulu mu kunywa Shisha.

Mu kiro ekikeeseza olwaleero, Nabatanzi yalabiddwako ku Cubana e Munyonyo ng’ali ne mukwano gwe ssaako n’abasajja babiri nga bali mu kunywa shisha n’eby’okunywa eby’enjawulo omuli wayini.

Ng’omukyala omulala yenna ali mu laavu, Nabatanzi abadde musanyufu nnyo era alabiddwako ng’akuba bwama omusajja eyabadde amuliraanye.

Nga bali ku Cubana e Munyonyo

Okusinzira ku kigatto waffe, omusajja ali mu myaka 40 ku 60 era yalabiddwako ng’ayambako munne okunywa Shisha.

Mu kiseera kino Nabatanzi yakoowa bannamawulire oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya n’omugagga w’e Masaka Emmanuel Lwasa, eyali muganzi we.

Nabatanzi alina Work

Ekitiibwa ky’omukyala yenna, kwe kufuna omusajja amuweesa ekitiibwa, kyokka mu kiseera kino bba wa Nabatanzi tamanyikiddwa.

Nabatanzi ne mikwano gye nga bali mu ssanyu
Diana Nabatanzi awonye empewo y’ekiro, afunye omusajja