Mu nsi y’omukwano, kkiisi kye kimu ku kintu, ekiyambako mu kutambuza omukwano.
Abamu, bagamba nti kkiisi y’emu ku mpagi ezikola omukwano n’okulaga munno nti ddala ali ku mutima.
Olunnaku olwaleero, Ssenga Kawomera akuleetedde ebika bya kkiisi eby’enjawulo, ebyongera ebirungo mu mukwano.
Ssenga Kawomera agamba nti waliwo
Kkiisi y’omu kyenyi
Ennyindo
Ku mumwa
Mu bulago
Mu kamwa munda
Kkiisi wakati mu kaboozi
Ekkiisi y’olulimi n’endala.
Ssenga agamba nti abavubuka bangi tebategeera nsonga za mukwano era bangi balowooza kimu kkiisi ya kamwa munda.
Kkiisi wakati mu kaboozi eyamba nnyo okusumulula omukyala singa afuna omusajja agitegeera obulungi mu kiseera ekituufu.
Ng’omuntu omulala yenna, singa omukyala oba omusajja afuna omuntu nga talina kyategeera mu nsonga za kkiisi, ayinza okwetamwa ensonga z’akaboozi.
Ssenga Kawomera era agamba nti wadde waliwo kkiisi ez’enjawulo, zonna ziyambako mu nsonga z’omukwano.