Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Luweero, asindise mu kkomera omukyala Dorothy Nabulime myaka 22, eyali mu katambi ng’aliko omwana myaka 2, gwe yali akuba mu kiseera ky’okunaaba.

Nabulime nga mutuuuze mu zzooni y’e Busula mu Katawuni k’e Busula mu ggoombolola y’e Katikamu mu disitulikiti y’e Luweero, asindikiddwa mu kkomera okumala emyezi 18 gyokka.

Nabulime yakkiriza emisango gy’okutulugunya omwana we Peace Bushabe n’okumutusaako ebisago mu maaso g’omulamuzi John Paul Obuya sabiiti ewedde.

Nabulime mu kkooti

Mu kkooti bwe yali akkiriza emisango, yategeeza omulamuzi nti omwana yamukuba olw’obusungu, nga mu kusooka yasobezebwako,  nafuna olubuto, tamanyi kitaawe ate ng’embeera y’ebyenfuna eyongedde okumunyigiriza nga y’emu ku nsonga lwaki yafuna obusungu

Sabiiti ewedde, yasaba ekibonerezo ekisamusaamu ng’alina omwana omuto myezi 4, gw’alina okulabirira.

Mu kkooti ebadde ekubirizibwa omulamuzi Mariam Nalugya Ssemwanga, Nabulime asibiddwa emyezi 18.

Omulamuzi wadde asaasidde Nabulime okusobezebwako, agambye nti tekimuwa lukusa wadde obuyinza okudda ku mwana okutulugunya.

Mungeri y’emu omulamuzi agambye nti ebikolwa bya Nabulime n’okusigala ng’alina emirembe, balina okumugya mu bantu era y’emu ku nsonga lwaki asindikiddwa mu kkomera lye Butuntumula, okumala emyaka 18 ku misango gy’okweyisa mu ngeri etali ya buntu n’emyezi 6 egy’okutulugunya omwana.

Nabulime okukwatibwa, kyava katambi akatambula ennyo ku mikutu migatta bantu, omuli Face Book, WhatsApp n’emirala.

Oluvudde mu kkooti, Joyce Namigadde, akulira eddembe ly’abaana mu disitulikiti ya Luweero, atendereza kkooti, okusiba Nabulime, okusobola okuba eky’okuyiga eri abantu abalala, abegumbulidde okutulugunya abaana abato.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4WABbjsCWA8&t=45s