Omugagga w’omu Kampala aswadde mu maaso ga mukyala we, akwatiddwa lubona ng’ali mu loogi n’akawala ka Yunivasite bali mu kwesa mpiki.

Omugagga ategerekeeseko erya Kityo nga y’omu ku basuubuzi b’omu Kikuubo yakwatiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ng’ali mu loogi mu bitundu bye Makindye.

Omukyala nga mutuuze ku Busabala Road, Makindye agamba nti omusajja yavudde ku mulimu ku ssaawa nga 8 ez’emisana wakati mu nkuba mbu yabadde alina olukiiko lw’omukolo gw’okwanjula ne mikwano mu bitundu bye Ntebbe.

Wabula ssaawa nga 12:30 ez’akawungeezi, omukyala bwe yabadde addayo awaka, kwe kusanga emmotoka ya bba ekika Harrier mu Pakingi ya loogi.

Agamba, okwebuuza ku bakozi ku loogi, yategezeddwa nti bba ali mu loogi munda, ng’alina okulinda ebweru.

Omukyala ategerekeseeko erya mammy Jane, yakubidde bba essimu nga zonna teziriiko, kwe kusalawo okulinda mu Pakingi ya loogi.

Ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, omukyala yawaddeyo ssente naye okufuna ekisenge, okulondoola bba n’okuzuula omuwala/omukyala ayagala okutabangula amakaage.

Omukozi ku loogi bwe yabadde awandiika ebikwata ku mukyala okuva ku Densite, kwe kulaba ekisenge bba mwe yabadde n’omuwala 34A/F2 era amangu ddala yatambudde okunoonya bba.

Okutuuka ku kisenge 34A/F2 ng’omuwala ne bba bali mu kusinda mukwano oluvanyuma lw’okulya n’okunywa.

Omukyala agamba nti yawulidde omuwala ng’agamba nti ‘Oh yaaaa, daddy yiiyo’, kyokka yasobodde okukakana, okusobola okuyita omusajja nga yefudde omu ku bakozi.

Oluvanyuma lw’eddakika 3, omusajja yaguddewo oluggi, amaaso gatuukidde ku mukyala we, era amangu ddala okulwanagana kwatandikiddewo.

Omuwala wa Yunivasite, yasobodde okukwata engoye ze era yasobodde okudduka okwambala obugoye, okwesonyiwa embeera kuba omukyala yabadde alemeddeko okumukuba wabula omusajja yasobodde okumutaasa.

Oluvanyuma lw’omuwala okudduka, omukyala yatabukidde bba okudda mu bwenzi n’ekigendererwa eky’okuleeta ebirwadde mu famire.

Wabula omusajja naye yatabukidde omukyala okukomya okumulondoola era amangu ddala yamulabudde okudda awaka.

Omusajja wadde alina ssente, agamba nti ye ng’omusajja waddembe okukola ebintu ebimuwa essanyu.

Omukyala yavudde ku loogi okudda awaka ng’ali mu maziga, oluvanyuma n’omusajja yawerekedde kyokka yabadde aswadde mu batuuze ssaako n’abakozi bonna ku loogi.

Omu ku batuuze ng’avuga bodaboda yagambye nti omusajja y’omu ku bagagga abasuubuzi b’omu Kikuubo wadde tamanyi linnya lye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q