Dr. Atwine abyogedde!
Minisitule y’ebyobulamu ebotodde ekyama nti Uganda yalumbiddwa ekirwadde ki Ebola nga kizuuliddwa mu disitulikiti y’e Mubende.
Okusinzira ku muwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine, omusajja eyafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga yabadde mutuuze ku kyalo Ngabano mu ggoombolola Madudu mu disitulikiti y’e Mubende, okunoonyereza kulaze nti yafudde Ebola.
Dr. Atwine agamba nti omusajja yagenze okufa nga bamugyeko ‘sampo’ okumwekebejja era yafiiridde ku myaka 24, Ebola ekika kya Sudan.
Mungeri y’emu agamba nti omusajja, yagenze okufa ng’abaddeko n’abantu ab’enjawulo era nga kiteeberezebwa nti n’abo, baasigiddwa obulwadde.
Dr. Atwine agamba nti waliwo abafuniddwa, abatwaliddwa mu kifo ekyekusifu kyokka waliwo abakyanoonyezebwa omuli n’okunoonyereza ku kyaviriddeko abantu 6 okufa era mu disitulikiti y’e Mubende, nga kigambibwa baafudde Ebola.
Dr. Atwine ng’omusawo omutendeke, awanjagidde bannayuganda okwegata mu kulwanyisa Ebola, okumutangira okusasaana.
Alabudde bannayuganda okwekeneenya buli muntu yenna, ayinza okulaga nti mulwadde wa Ebola.
Agamba nti mu kiseera kino omulwambo gw’omusajja, gukuumibwa ku ddwaaliro ekkulu e Mubende era essaawa yonna, Minisitule egenda kusindika abasawo, okuziika omusajja mu ngeri y’obukugu, etangira okutambuza obulwadde.
Ekirwadde kya Ebola, kireeta omusujja, okuggwamu amaanyi mu mubiri, okulumwa ennyingo, okutanaka, embiro saako n’amabwa mu bulago era Dr. Atwine asabye abantu okweyambisa amalwaliro agali mu bitundu byabwe singa bafuna omulwadde yenna ng’ali mu mbeera bwetyo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q