Abasawo mu ggwanga erya Congo boongedde amaanyi mu kunoonyereza, okuzuula abantu bonna abayinza okuba nga basemberedde omukyala eyafudde Ebola.

Omukyala eyafudde sabiiti ewedde ku Lwokusatu, yabadde mu gy’obukulu 42 era yabadde mutuuze mambuka g’essaza lye Kivu era yafudde, wakayita ennaku 2 zokka ng’abasawo, bazudde nti alina Ebola.

Mu kiseera kino, abasawo basobodde okufuyira ekifo, omugenzi weyafiiridde ssaako n’okunoonya abantu bonna, abamukutteko.

Agavaayo, galaga nti bakazuula abantu 70 abagambibwa nti okusemberera omulwadde.

Kinnajjukirwa nti nga tusemberera okumalako omwaka oguwedde ogwa 2020, Congo yategeeza nti Ebola awedde mu ggwanga lyabwe, oluvanyuma lw’okutta abantu abasukka 50.

Wabula Minisita w’ebyobulamu Eteni Longondo agambye nti okunoonyereza ku ngeri omukyala gye yafunyemu Ebola kutandikiddewo.

Congo wakati wa August, 2018 ne June, 2020, yafiira abantu 2,200 nga bonna bafudde Ebola.