Minisita w’ekikula ky’abantu n’obuwangwa Peace Mutuuzo agamba nti abayimbi, bayinza obutakkirizibwa kudda massomero, okutwalayo ebivvulu nga bwe kibadde kikolebwa nga bagenda okunoga ensimbi ssaako n’okusanyusa abayizi.
Minisita Mutuuzo, agamba nti abayimbi, okwambala enkunamyo eziraga ebitundu by’ekyama nga bali massomero, y’emu ku nsonga lwaki, bayinza okutakkirizibwa kuddayo, oluvanyuma lw’ okuwerebwa mu Gwomusanvu.
Agamba, abayimbi okudda massomero, bayinza okulemesa abayizi okuyimusa ebitone byabwe n’okusiiga abayizi obuseegu ku myaka emito nga wadde bakyali mu kuteesa ku biyinza okusanyusa abayizi nga bakyali massomero, abayimbi bayinza obutadda massomero.
Ebigambo bya Minisita Mutuuzo, biwadde abayizi essanyu kuba kati ye ssaawa okweyambisa omukisa guno, okutumbula talenti zaabwe.
Minisita Peace Mutuuzo, nga yakyaaka nnyo ku nsonga y’okuwakanya abakyala okukyalira ensiko, avuddeyo ne ku nsonga y’abayimbi mu Uganda abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Musicians Association (UMA) okulonda abakulembeze baabwe.
Minisita Mutuuzo, agamba nti bakyanoonya ssente, okulaba nti buli muyimbi, yetaba mu kulonda abakulembeze.
Wadde King Saha ne Sanyu Cindy, bavaayo dda nga begwanyiza obukulembeze, Minisita Mutuuzo abasuubiza nti bakulonda nga bakyanoonya ssente, ezinatambuza abayimbi, okufuna okulonda okw’amazima n’obwenkanya.
Okubyogera, abadde ku mukolo gw’okutongoza empaka z’okunoonya omukyala omunene asinga ffiga ezakazibwako ‘Miss Curvy’ ez’omulundi Ogwokubiri ku mukolo ogubadde mu Kampala.
Entikko y’omukolo nga yakubaayo nga 25, November, guno omwaka 2022, nga Minisita w’ekikula ky’abantu n’obuwangwa Peace Mutuuzo, awanjagidde abakyala abanene okuzenyigiramu nga y’emu ku ngeri eyinza okuyitibwamu okuyingiza ensimbi.
Mu kutongoza empaka, amyuka ssaabaminisita asooka, eyali sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga, yabadde omugenyi omukulu.
Kadaga abasuubiza nti Gavumenti, yakwongera okubawagira, okutuukiriza ebirooto byabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IhOrhMFuZb8