Omu ku bayizi ku Yunivasite e Kampala abotodde ekyama nti yakasiiga abasajja abasukka mu 100 akawuka.
Omuwala ono ng’ali mu myaka 24 asoma mbeera z’abantu ku Yunivasite agamba nti abazadde bonna baafa ng’akyali muto ku myaka 4.
Wadde Ssenga yamutwala mu kusooka, wabula ku myaka 7 yaddukayo nga yali asukiridde okumutulugunya.
Senga yali mutuuze we Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omuwala wadde amannya gasirikiddwa, agamba nti mama we yeyasooka okufa nga wa myaka 2 kyokka oluvanyuma lw’emyaka 2, ne kitaawe yafa.
Agamba oluvanyuma lw’okudduka mu maka ga Ssenga e Bulenga, waliwo omuwala eyamutwala era yamusuubiza okumuyamba kuba yali akyali muwala muto.
Mu kusooka, omuwala yamulabirira kyokka oluvanyuma lw’okumala P7, embeera yakyuka.
Wadde emboozi mpavu, naye ku myaka 14, omuwala obulamu bwakyuka oluvanyuma lwa’omukyala eyali amulabirira, okumutwala mu bizinensi y’okwetunda, okunoonya ssente z’okusoma n’okwelabirira.
Ku myaka 15 yakizuula nti yali yafuna akawuka ka siriimu.
Omuwala agamba nti wadde ali ku ddagala mu kiseera kino, okwetunda kati mulimu kuba asobodde okufuna ssente okutambuza obulamu omuli okufuna eky’okulya, okusasula ennyumba, okufuna School Fees za Yunivasite, okwambala n’ebirala.
Bw’abadde awayamu naffe, agambye nti yasoma ‘secondary’ yonna ng’ali mu kwetunda ng’olunnaku ayinza okufuna abasajja wakati wa 2 – 4 kuba yali yetaaga ssente.
Mu kiseera kino agamba nti wadde abaddeko n’abasajja ab’enjawulo, yakasiiga siriimu abasajja abasukka mu 100 nga bangi ku basajja tebaagala kwambala kondomu.
Wadde asemberedde okufundikira emisomo gye, agamba nti ku myaka 24, okwetunda kati mulimu kuba alina abasajja ku myaka gyonna omuli abasuubuzi b’omu Kampala, abayizi ku Yunivasite, alina abasajja b’enjawulo nga ba Boy Friend ssaako ne Bakasitoma kyokka wadde mulwadde wa Siriimu, tewali akimanyi kuba akyalabika bulungi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=wbboONTd8CA