kaboozi!

Wadde abamu ku bantu abali mukwano, bazanyira mu nsonga z’okusinda omukwano, Ssenga Kawomera akuleetedde ebirungi ebiri mu kwesa empiki.
Ssenga Kawomera agamba nti wadde abantu bakeera kunoonya ssente, akaboozi kintu kikulu nnyo eri abantu bonna abali mu laavu ne ku bulamu bw’omuntu.
Kawomera ng’omukyala omutendeke mu nsonga z’omu kisenge, agamba nti akaboozi, kalina ebirungi bingi nnyo era buli muntu yenna ali mu laavu, alina okawa obudde.
Lwaki kalina omugaso!
Ssenga Kawomera agamba nti akaboozi, y’emu ku mpagi eziyimirizaawo omukwano mu mbeera yonna. Singa omukyala oba omusajja afuna omuntu ategeera ensonga z’omukwano, kiyamba nnyo omukwano okutambula obulungi. Omukyala ayinza okwenda oba omusajja, okunoonya omuntu ayinza okumuwa essanyu ly’omu kisenge.
Kawomera agamba nti, omukwano gwonna okuwangala, akaboozi kalina okuba akalungi ennyo.
Mungeri y’emu agamba nti akaboozi kaleeta essanyu. Singa omuntu yenna afuna akaboozi akalungi, kireeta essanyu mu bulamu. Omukyala oba omusajja ayinza okukola emirimu egy’enjawulo kuba musanyufu mu bulamu. Ssenga Kawomera kwe kusaba abasajja oba abakyala, okulaba nga benyigira mu kaboozi, okusobola okufuna essanyu.
Okusinda omukwano kiyamba nnyo mu kulwanyisa endwadde. Ssenga Kawomera era agamba nti akaboozi kayamba nnyo omuntu yenna okwetangira endwadde omuli Puleesa, endwadde z’omutima. Okunoonyereza kulaga nti singa omuntu yenna afuna akaboozi akalungi mu kadde akatuufu, kiba kizibu okufuna endwadde kuba omubiri kusigala nga gukola bulungi.
Ssenga Kawomera era agamba nti akaboozi kayamba nnyo omuntu yenna okwebaka obulungi. Ssenga Kawomera era agamba nti wadde omuntu eyinza okuba nga mukoowu, singa afuna akaboozi, kiyamba nnyo okufuna okwebaka okulungi.
Mu bulamu, omuntu ayinza okufuna endwadde ez’enjawulo nga kivudde ku birowoozo ebisukkiridde. Ssenga Kawomera agamba nti singa omuntu yenna afuna akaboozi akalungi, kiyamba nnyo mu kulwanyisa ebiworoozo.
Singa omuntu yenna afuna akaboozi, olw’okuba kiyamba nnyo mu kulwanyisa endwadde, omuntu yenna ayinza okuwangala. Kale kirungi okufuna akaboozi mu budde.
Abakugu bagamba nti akaboozi y’emu ku ngeri y’okukola dduyiro mu bantu. Olw’okunoonya ssente, abantu tebalina budde kukola dduyiro, ekivudde endwadde okweyongera. Singa omuntu yenna afuna akaboozi, kiyamba okukola dduyiro wakati mu ssanyu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=wbboONTd8CA