Essanyu libugaanye abayizi n’abasomesa ku ssomero lya St. Kizito Primary School ku kyalo Kyajja e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono, webafunye obuyambi bw’ebintu eby’enjawulo.

Ab’ekitongole ky’obwa nakyewa ekya ‘Take a Child to School Uganda’ baduukiridde abaana n’ebintu omuli ebitabo, ekalaamu, engoye, eby’okunywa omuli juyisi, ssooda, paadi eri abaana abawala okuzeyambisa nga bagenze mu nsonga, okusomesa abayizi ku ngeri y’okwewala endwadde omuli Ebola n’okubawa amagezi ku birungi ebiri mu kusigala mu ssomero.

Abayizi bafunye ku ssanyu

Okusinzira ku ssenkulu wa Take a Child to School Uganda, Mahad Mubiru, ku ssomero tebalina mazzi, abaana abamu bavudde mu ssomero olw’abazadde okulemwa okusasula ‘School Fees’, abayizi betaaga eky’okulya nga bali ku ssomero nga betaaga obuyambi.

Mahad Mubiru akulembeddemu okuyamba

Mubiru agamba nti obwavu, y’emu ku nsonga lwaki abazadde betaaga obuyambi ate okusiimba emiti omuli emiyembe egisukka 20, kikoleddwa okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.

Mungeri y’okuyamba abaana okusigala nga bali mu ssomero, Mubiru agamba nti balina abaana abasukka mu 15, abali ku sikaala za ‘Take a Child to School Uganda’, okusobola okusigala mu ssomero, abamu bafunye obujanjabi ku ndwadde ez’enjawulo omuli Kkansa kwe kusaba kampuni ez’enjawulo okuvaayo okutaasa n’okuwaayo obuyambi.

Abayizi bafunye ebitabo

Ate abayizi wakati mu ssanyu, batendereza omutima omulungi ogwa ‘Take a Child to School Uganda’, okuvaayo okubaduukirira.

Abayizi bagamba nti embeera mbi awaka ng’abazadde balemwa n’okufuna eky’okulya era okufuna ebitabo, kyongedde okutangaza emikisa gyabwe, okusigala mu ssomero.

Basomeseddwa okwekuuma

Ate abasomesa bagamba nti bangi ku baana abawala bavudde mu ssomero olw’abazadde okulemwa okubawa ebyetaagisa nga bali mu nsonga.

Abasomesa basiimye ekibiina kya ‘Take a Child to School Uganda’, okuvaayo okuyamba abaana abawala ne paadi.

Basobodde okusimba emiti

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q